|
Netters
These are the results of the movement's being in Uganda
this long. Mwaami Matovu has told us over and over how education has
improved in Uganda. And how the economy has improved.
But this is the true picture of our country today thanks
to NRM's 20 years. This is a fellow called Abdul Ssemakula, age 8 who is
an orphan and he survives by selling corn. Those 4 kids are his brothers
and he has to take care of them including a very old grand mother. Where
does this happen? In Kampala, the capital city of Uganda.
This fella has to go to Bwayise every morning to buy
wood he uses to prepare his maize and porridge which he sells to his daily
customers. The corn that he fails to sell at the end of the day is what he
takes home for his family to feed on. My question to you is, where the
hell is the government of Uganda? How many 8 year olds are in this same
situation in Uganda today? Fellas what kind of citizens will these kids
become when they grow up?
World Bank and Chifu Wa malindi states that Uganda's
economy has improved.
Very Pathetic indeed.
Em
Ow�emyaka omunaana ayokya kasooli aweerere baganda be |
Ssemakula (ku kkono) ng�ayokya kasooli ne banne e
Kawempe.
Bya Madiinah Sebyala
MMWE ba ngalo bunani abawoza ssente
zaabula ne mudda mu kusabiriza mbasekeredde! Ebyo bye muwoza nti nninda
gundi ampe byakoma, guno omulembe gwakukola nnyo.
Olaba n�abaana
abato abaalindanga bazadde baabwe ne babayiiyiza kati batandise
okutetenkanya bafune ekigulira magala eddiba, anti ng�abazadde babalese
ttayo nga bayagga mu nsi eno.
Wali okirowoozezzaako nti omwana
ow�emyaka munaana ayinza okuweerera banne ng�ate ensimbi aziggya mu kwokya
kasooli !
Wuubako olubu lw�ebigere e Kawempe mu Kiyindi Zooni
gy�onoosanga Abdu Ssemakula ow�emyaka munaana ng�ayokya kasooli mw�aggya
ssente n�asobola okuyimirizaawo amaka ate n�afunako n�ebisale by�essomero.
Semakula nnamusanze ayokya kasooli ne bagandabe abato, ku ssaawa
ssatu ez�ekiro naye nga bonna empewo ebayiseemu. Baabadde bayuuya nga bwe
beetakula ne bantegeeza nti enjala ebaluma kuba basulirira kasooli naye
ate nga balya addibye olwo bwatadiba ne banywa amazzi ne beebaka.
Semakula agambibwa okuyimirizaawo abawuulu b�e Kawempe
olw�okwettanira kasooli we n�obuugi bw�afumba yanyumirizza engeri
gyakakkalabyamu emirimu gye nandeeta n�amaziga.
�Nzuukuka ku
ssaawa 11.00 ez�oku makya ne nsaala, ku ssaawa 12.00 ne ng�enda mu katale
k�oku Kaleerwe gye nsuubula ensawo ya kasooli ku 1000/- ne muleka awaka ne
ngenda nsoma e Mulago Moslem Primary.
Nga sinnaba kutandika kwokya
kasooli olw�eggulo nsooka kugula nku e Bwaise ze nnaamwokesa. Nfumba
n�obuugi kuba buli gwe nguza kasooli asabirako ekikopo ky�obuugi.�
bw�agamba. Bwe nnamubuuzizza gye yava okujja e Kawempe yategeezezza
bwati: �Nnali mbeera ne mmange e Namataba mu Busunju naye nga sisoma
jjajja wange kati gw�embeera naye gwe saagala kwogera linnya n�ankwata ku
mukono n�andeeta e Kampala nsobole okubaako kye nkola nsome kuba nnali
sisoma��
Agamba nti kati amaze emyaka esatu ng�ayokya kasooli ate
ng�aweerera banne bana b�agamba nti bamulekwa. Agamba nti jjajja waabwe
gwe babeera naye akaddiye nnyo era tasobola kukola mulimu gwonna
olw�obulwadde. Bwe nnabuuzizza Semakula ku kya ssente z�afuna olunaku
yanzizeemu bwati:
�Nze kasooli wange tadiba ntunda nnyo,era
olunaku nfuna amagoba 1200/- ne nziwa jjajja n�azitereka endala ne
nzizzaayo okusuubula.
�Okufuna entandikwa y�okwokya kasooli jjajja
wange yampa 1000/- ne ntandika okusuubula wabula mu kutandika tebyasooka
kuba birungi kuba nnalina obuzibu mu kubala. Naye kati ndi mu kyakusatu,
teri muntu ayinza kumubuzaabuza.� bwannyonnyola.
Yagambye nti
asuubira okuggulawo akawunta mu bbanka asobole okutereka ssente ze
obulungi.
Ssemakula agamba nti obuzibu bw�asanga mu mulimu guno be
baganda be abakaabira kasooli gw�atunda nga baagala bamulye.
Abamu
ku bakasitoma ba Ssemakula bagamba nti tebalabangako mwana alina mutima
nga ogugwe kuba tayinza kulyako banne kintu kyonna ate nga alina olulimi
olusikiriza bakasitooma, wabula basaba ayinza okumuduukirira amwongere ku
ssente asobole okugaaziya bizinesi.
Wadde nga Ssemateeka wa Uganda
agaana abaana abali wansi w�emyaka 18 okukola emirimu nga gino naye
embeera ewaliriza ba Ssemakula bangi okukola, ggwe ate banaakola batya nga
babuuzeeko ayamba! |
The Mulindwas
communication group "With Yoweri Museveni, Uganda is in
anarchy"
|
<<1035805970kasoli.jpg>>