Kasita Mwebaka eddembe lyabaviira munsiko banaffe.
Em
       The Mulindwas communication group
"With Yoweri Museveni, Uganda is in anarchy"
 
 
----- Original Message -----
Sent: Friday, November 08, 2002 8:49 PM
Subject: ugnet_: Abaganda mutandike okukaaba (Baganda, you had better start weeping)

Abaganda mutandike okukaaba

Bya Betty Nambooze

 ENNAKU zino mu bitundu by'egggwanga bingi n'okusinga mu Buganda okutunda ettaka kweyongedde, olaba n'ow'ekibanja atunda!

 Bwogendako mu byalo buli akuzza wa bbali mu kyama aba akubuuza oba olina gw'omanyi ayagala okugula poloti abamu ne bw'omuwa 100,000/- akukkiriza okukola endagaano.

Wabula ate wadde bangi batunda ate n'abagula nabo bangi. Kati waliwo amakampuni ag'amaanyi agakola ogw'okutunda ettaka n'amayumba mu ssente ez'obuliwo.

 Kkampuni zino okumanya z'amaanyi ezimu zikuba ebirango ku laadiyo za FM nga zikubiriza abaagala okwetundako ettaka n'amayumba okuzituukirira wamu n'okugaba ebirabo eri abo abaddamu ebibuuzo ebizikwatako (kkampuni).

Kino kitegeeza nti ettaka n'amayumba agawedde biri ku ttunzi kuba tewali bulooka ayingira mu kutunda kintu kitaliiko katale era kyanasobola okutunda naye n'afuna enjawulo.

 Ekyewuunyisa bangi ku batunda ettaka oba amayumba gaabwe beekwasa bwavu kati obukudde ejjembe mu ggwanga naye bwe buba bwavu olwo bo bannaffe abagula ensimbi baziggya wa?

 Ate abagula ettaka n'amayumba bano ensimbi balabika balina eziwera ate nga ne kye bagula bakyagala mu bwangu ate mu bungi kubanga olaba nti n'okunoonya ettaka n'amayumba agatundibwa babitaddeko n'enkessi za babulooka.

 Kye nneebuuza nti abagagga bano abayiise naddala wano mu Buganda nga bagula ettaka n'amayumba agawedde bavudde wa era balina kigendererwa ki?

 Kyokka waliwo omu ku babulooka eyannyinyonnyodde nti abaguzi bano abagula ebibanja mu doola ne pawunda ate abasasula mu buliwo buli abalaga ku kyapa be Bannayuganda abali ku kyeyo mu mawanga g'Abazungu abakola ssente mu bugubi era ababadde mu Amerika ne Bungereza gye bategeeredde omuwendo gw'ettaka.

 Yantegeezezza nti abantu bano kye bavudde basinga okwettanira okukolagana n'amakampuni okugatuma okubagulira ettaka n'amayumba kivudde mu kuba nti mu kusooka ensimbi bwe baziweereza nga ab'enganda zaabwe beegulira bintu kulya.

 Naye ate kizibu okumatiza omuntu nti buli agula ettaka oba ennyumba aba yavudde ku kyeyo abamu tubamanyidde ddala be bantu abatalinnyangako wadde ku nnyonyi okugenda okusuubula e Kanya.

 Be bantu abali mu ofiisi n'ebitongole bya gavumenti abafuna omusaala ogutagula wadde eggaali naye nga basobola okugukungaanya ne bagula amayumba ag'obukadde bw'ensimbi.

 Omuntu agoberera ebigenda mu maaso mu kakiiko k'omulamuzi Julia Ssebutinde akabuuliriza ku bulyake mu kitongole ky'eggwanga ekiwooza emisolo ayinza okufuna endowooza nga eyange nti waliwo Bannayuganda abakumpanya ekisukkiridde abeeyambisizza ensimbi z'eggwanga okwegulira eby'obugagga olwo omuwi w'omusolo n'asigala kwetundako bibye okusobola okuvuganya na bali abazefunira mu bukujjukujju.

 Ensimbi z'omusolo ezandikoze ku nsonga eziyamba bannansi bwe zibbibwa olwo kitegeeza nti ate bannansi baba balina kuddayo ne beenoonyeza ssente beekolere ku buzibu bwabwe.

 Olwaleero bangi abatunze ettaka lyabwe ssente olumala okuzibakwasa nga bagenda kugula bifi bya nnyama na kunywa mwenge. Mubaddeki? Abalala baweereddemu baana n'okugulako emmere gye bagenda okulya n'ebintu ebirala ebitalina mugaso.

 Nze sisuubira nga eggwanga ne Buganda bigenda kutereera ng'abantu beetundako ebyabwe ne babiguza abantu ab'olubatu bo abafunye omukisa okwefunira ssente ez'amangu eziremye abalala okufuna.

 Mbalabula wadde mukaaba obwavu, bajjajjaffe baalwana nnyo okufuna ettaka lye mutunda. Mubeere mu mayumba gammwe n'obwavu bwammwe nga mulima ku ttaka eryo naye nga temulitunze kubanga mugenda kukaabira mu nsi yammwe nga tewali abayamba. Akuume.

 Published on: Sunday, 3rd November, 2002

http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?newsCategoryId=184&newsId=94351

-------

As the Late Franco said, "Likambo lya mabele, ... sangoma".  Land could well be Uganda's Achille's heel -- as if our otherwise  already ugly politics were not enough!



Add photos to your messages with MSN 8. Get 2 months FREE*.

Reply via email to