Netters
Do you remember when Agricultural students were refused
to sit their exams? There was some exchange between Lisa Toro and Mwaami Matovu.
Matovu stated, Lisa those students can not be helped now for they were late in
paying their fees. Matovu told every body that it was late to help those girls.
Well the article below tends to differ with Mwaami Matovu's thinking. Why did
Matovu try his best to see that these girls do not get assisted by posting wrong
information on the net?
Em
===============================
Abazadde mwegendereze amasomero mwe mutwala abaana
ABAYIZI bana aba S.4 ab'essomero lya St. Joseph SSS e Nansana abaabadde
bagaaniddwa okukola ebigezo olw'okubanjibwa fiizi eziri wakati wa 3,000/- ne
20,000/- kati basanyufu olw'okufuna abazirakisa abaabasasulidde ensimbi zino.
ABANTU abeegattira mu kibiina ekisoma amawulire ku mukutu gwa Internet
mu Amerika ne Sweden be beesonzeemu 60,000/- ne baziyisa mu Bukedde
eyazikwasizza abayizi bano.
ABAYIZI bano omukulu w'essomero yabafulumya
bwe baali bakola ekibuuzo ky'obulimi era ekyo baakisubwa wadde ng'omu ku bo yali
abanjibwa 3,000/- zokka era baalagibwa mu Bukedde nga bakaaba amaziga
kubanga baali balaba ng'emyaka gyabwe ena gyonna gifiiridde busa.
BAZADDE b'abaana bano baajuze okufa essanyu bwe baategeezeddwa nti
waliwo omuzirakisa agenda okubasasulira ssente z'ebibuuzo kubanga babadde
tebakyalina ssuubi ly'abaana baabwe kuddamu kukola bibuuzo.
ABAKULIRA
essomero lino okugoba abayizi ba S4 mu bigezo byabwe ebyakamalirizo olw'obusente
obutono bwe butyo bwe bandibadde basobola n'okusasula nga bamaze ebigezo
kwabadde kugezaako kwonoona biseera byabwe eby'omu maaso.
EKISINGA
okuwulikika mu biseera eby'ebibuuzo be bakulu b'amasomero abadduka n'ensimbi
z'abayizi ez'okubawandiisa abayizi abo ne batatuula bigezo bisembayo.
Abakulira essomero lya St. Joseph nabo tebalina njawulo na bakulu
b'amasomero bano abadduka n'ensimbi z'abayizi kubanga bonna tebalumirirwa
biseera by'abayizi eby'omu maaso wabula bafa ku ssente.
N'OLWEKYO
abazadde balina okuba abeegendereza nga balonda amasomero aw'okutwala abaana
baabwe baleme kugwa mu bitimba ng'ebyo bye tumenye waggulu.
Kyokka ne
gavumenti erina okubonereza abakulira amasomero abazuulibwa nti mu ngeri emu oba
endala bafaayo ku byakufuna okusinga ku bulamu bw'abaana be basomesa obw'omu
maaso.
Published on: Wednesday, 27th November, 2002
The Mulindwas
communication group "With Yoweri Museveni, Uganda is in
anarchy"
|