"Mulindwa Edward" <[EMAIL PROTECTED]> wrote: >Netters > >Do you remember �when Agricultural students were refused to sit their exams? There >was some exchange between Lisa Toro and Mwaami Matovu. Matovu stated, Lisa those >students can not be helped now for they were late in paying their fees. Matovu told >every body that it was late to help those girls. Well the article below tends to >differ with Mwaami Matovu's thinking. Why did Matovu try his best to see that these >girls do not get assisted by posting wrong information on the net? > >Em > >=============================== > >Abazadde mwegendereze amasomero mwe mutwala abaana > >ABAYIZI bana aba S.4 ab'essomero lya St. Joseph SSS e Nansana abaabadde bagaaniddwa >okukola ebigezo olw'okubanjibwa fiizi eziri wakati wa 3,000/- ne 20,000/- kati >basanyufu olw'okufuna abazirakisa abaabasasulidde ensimbi zino. > >ABANTU abeegattira mu kibiina ekisoma amawulire ku mukutu gwa Internet mu Amerika ne >Sweden be beesonzeemu 60,000/- ne baziyisa mu Bukedde eyazikwasizza abayizi bano. > >ABAYIZI bano omukulu w'essomero yabafulumya bwe baali bakola ekibuuzo ky'obulimi era >ekyo baakisubwa wadde ng'omu ku bo yali abanjibwa 3,000/- zokka era baalagibwa mu >Bukedde nga bakaaba amaziga kubanga baali balaba ng'emyaka gyabwe ena gyonna >gifiiridde busa. > >BAZADDE b'abaana bano baajuze okufa essanyu bwe baategeezeddwa nti waliwo omuzirakisa >agenda okubasasulira ssente z'ebibuuzo kubanga babadde tebakyalina ssuubi ly'abaana >baabwe kuddamu kukola bibuuzo. > >ABAKULIRA essomero lino okugoba abayizi ba S4 mu bigezo byabwe ebyakamalirizo >olw'obusente obutono bwe butyo bwe bandibadde basobola n'okusasula nga bamaze ebigezo >kwabadde kugezaako kwonoona biseera byabwe eby'omu maaso. > >EKISINGA okuwulikika mu biseera eby'ebibuuzo be bakulu b'amasomero abadduka n'ensimbi >z'abayizi ez'okubawandiisa abayizi abo ne batatuula bigezo bisembayo. > >Abakulira essomero lya St. Joseph nabo tebalina njawulo na bakulu b'amasomero bano >abadduka n'ensimbi z'abayizi kubanga bonna tebalumirirwa biseera by'abayizi eby'omu >maaso wabula bafa ku ssente. > >N'OLWEKYO abazadde balina okuba abeegendereza nga balonda amasomero aw'okutwala >abaana baabwe baleme kugwa mu bitimba ng'ebyo bye tumenye waggulu. > >Kyokka ne gavumenti erina okubonereza abakulira amasomero abazuulibwa nti mu ngeri >emu oba endala bafaayo ku byakufuna okusinga ku bulamu bw'abaana be basomesa obw'omu >maaso. > >Published on: Wednesday, 27th November, 2002 > > � � � The Mulindwas communication group >"With Yoweri Museveni, Uganda is in anarchy" >
-- He it is Who created for you all that is on earth...He is the All-knower of everything. Swaddaq Allahu Al-Adhim. Michael Bwambuga. __________________________________________________________________ The NEW Netscape 7.0 browser is now available. Upgrade now! http://channels.netscape.com/ns/browsers/download.jsp Get your own FREE, personal Netscape Mail account today at http://webmail.netscape.com/

