Sent: Thursday, February 06, 2003 5:10 AM

Kitaawe wa Maj. Kakooza Mutale yeebise abaana be bamukyalire bamuwe obuyambi!

Misanvu mutale kitaawe wa maj. Kakooza Mutale yeezinga ku kabulangiti akalimu ebituli ate wansi, akayumba Mzee Misanvu Mutale mw�asula.

Bya Tom Mutebi

ONO ye Brazito Misanvu Mutale, kitaawe wa Maj. Roland Kakooza Mutale omuwabuzi wa Pulezidenti ku byobufuzi!!

Bw�ebaayo akyayimba nti �okuzaala kujaagaana� genda weebuuzeeko ku muzeeyi Misanvu ajja kukuttottolera ggeyeena y�okuzaala.

Mwavu nnyo ne bw�omusuulira embwa temulya, asula ku kafaliso akasembayo okubeera akatono k�assa ku katanda ak�ekyuma ak�abaana abato! Bwe nnamukyalidde e Buloba ku luguudo lw�e Mityana nnamusanze ayambaddeko ssaati yokka, yeezinze ku buliri ng�eggongolo, yeekamirira ekikopo kya caayi omukalu ataliiimu ssukaali n�ebiwayi bya muwogo ng�amansddeko omunnyu.

Ggwe muzeeyi Misanvu?, bwe nnamubuuzizza n�anziramu nti, � Ye nze ssebo!� Ko nze nti, �Nedda, ntegeeza muzeeyi Misanvu, kitaawe wa Kakooza Mutale�
Yasoose n�antunuulira enkakaba ng�alagirira omusota n�anyeenya omutwe, olwo n�asekamu amanakunaku n�ang�amba nti, �Huu, nze mmuzaala era ye mutabani wange omukulu. Mwana wange bwoya, wa mu ntumbwe...�

Muzeeyi Misanvu mumanyifu nnyo e Buloba. Ku myaka 83 gy�alina y�omu ku bataka baakwo. Era buli gwe nnabuuzizza okundagirira w�abeera ng�ambuuza nti �ogamba ono kitaawe wa Kakooza Mutale?�

Wabula bw�obuuza ebisingako awo n�embeera gy�alimu bonna beemulula nga musota ne bamalamu omusulo! Kino nnakikoze ku bantu nga mukaaga okutuusa owa bodaboda omu bwe yang�ambye nti �Ho, oyagala omusajja atugajambule ng�ategedde nti ffe twayogedde ku mpisa ze?�

Misanvu abeera mu nnyumba ya busitoowa, ya bisenge bisatu. Ewuwe waliwo emimwanyi mingi era bw�oba oli muyise oyinza okulowooza nti ennyumba ye kifulukwa. Awaka wazise, asula na minya era singa bakubikira nti ekiwuka kyamulumye
teweewuunya.

Mwavu lunkupe, gwe bayita empongabyoya! Talina yadde akakoko akatakula. Ekibanja kye yakitundako ebiseera ebyo, era eyagula azimba ennyumba tennaggwa. Mulirwana we amwesudde mita nga 500 .

�Nnoonya baguzi bajje ntunde ku kibanja kyange nnerongoose naye buli omu bw�akimanya nti nze nzaala Kakooza Mutale tadda. Balowooza nti ajja kubakuba kibooko n�ekibanja akibaggyeko. Ndabye kuba nja kufa bubi nga nneezinze. Waakiri singa bantutte mu nkambi z�abanoonya obubudamu ne nfiira eyo tekisingako?� bwe yambuuzizza.

Embeera ya muzeeyi Misanvu aginyumya bwati: Nasomako okutuuka mu Junior II ensimbi ne zibula ne ng�enda mu Bazungu ne banjigiriza okuddaabiriza minzaani .

Nakolerako mu kitongole kya minzaani n�ebipimo okumala emyaka mwenda. Eno gye nnava ne ng�enda e Nakasero mu Bazungu abalala ne banjigiriza okutabula n�okusiiga langi.

Omulimu guno ngukoze ekiseera ky�obulamu bwange ekisinga obunene . Kyokka mu kiseera kino kyonna emirimu nnagigattangako okulima. Nnalina ssamba y�emwanyi nnene nnyo, era muno mwe nnaggyanga ensimbi enzimbeezaawo wamu n�abomu maka gange .

Amaanyi bwe gaagenda gakeewa ne ntandika okukolera ku ttendekero ly�abasomesa e Buloba .

Nnakoleranga ku kontulakita, nga nsiiga langi ebizimbe by�essomero ate nga mu biseera byange eby�eddembe abantu b�oku kyalo mbasiigira amayumba gaabwe.

Olutalo lw�ekiyeekera bwe lwaggwa mutabani wange Kakooza Mutale yajja n�angamba nti yali amaze okufuna ensimbi ezigenda okunnyimirizaawo .

Yandagira eby�okukola mbiveeko, n�angamba emmwanyi zonna tuzisaawe kubanga zaali zigudde akatale tusimbe olusuku kubanga amatooke gaali ku ttunzi.

Nneesunga nange okwesiimako, eby�okukola ne mbivaako kyokka nga mmaze n�okusaawa emmwanyi zange laba embeera by�ekyuka.
Omwana yagaana okundabirira.

Ensonga nnazitwala mu kakiiko k�ekyalo, kyokka Kakooza Mutale olwamuyita olukiiko yaluleetera ab�emmundu. Ab�akakiiko ensonga baazivaako nga batya okufiira obwemage. Bo balowooza nti buli alina emmundu atta bantu!Nze ssaamuloopa lwa kugaana kundabirira.

Nnamuloopa lwa kugaana omukulu w�ettendekero ly�e Buloba okuddamu okunsasula ng�amumatizza nti ye alina ssente ezindabirira. Ekirala nnamuloopa lwa kundyekadyeka n�ansaayisa emmwanyi zange ezaali zimbeezaawo.

Bino by�ebiseera ebyali wakati wa 1993 ne 1994. Olukiiko lwa LCI bwe lwalemwa ne nsalawo ensonga nzitwale mu kkooti kyokka nalaba nti omwana wange kijja kumuyisa bubi olw�obuvunanyizibwa bw�alina mu ggwanga.Nnalowooza nti bbwa ddene ligambwako nnyiniryo.

Nneesitula ne ng�enda ewa Pulezidenti Museveni ne ndooba omulenzi oyo. Yambuuza nti, �ggwe ozaala Kakooza Mutale?�. Bwe nnakkiriza omukulu yagaana okukakasa kino n�ang�amba nzireyo ndeete obujulizi,
Kakooza olwamanya nti mmuloopye ewa mukama we, era nti ng�enda kuddayo ewa Museveni nga ndi ne nnyina yatuyungulira abajaasi abayitirivu obungi n�angamba nti singa nsala ekubbo okugenda ewa Museveni nnali nja kwejjusa.

Nze nnakiwakanya, kyokka mukyala wange bwe tuzaal omwana oyo gwe twalina okugendayo okuwaayo obujulizi mukazi wattu yatya. Yang�amba nti � Nedda, nze sijja kugendayo.

Omwana ayinza okunkola ekizibu. Sifaayo ka nfiire mu bunaku...!�
Pulezidenti nnamulaba, n�ampaayo ku ssente (tazoogera muwendo) era embeera yange yalongookamu.

Yang�aana okuddayo okwogera ku Kakooza Mutale, nti ye ajja kumukolako. Oluvannyuma ng�ansiibula yankwasa minisita Muluuri Mukasa n�amulagira anzimbire ennyumba eno. Yamugamba era ampenga ebintu bye nneetaaga mu bulamu . Kyokka minisita olwamala okunzimbira akayumba kano ensonga zange yazikwasa musajja we ayitibwa Kamya akola ku by�ensimbi.

Kale bwe ng�endayo oluusi ampaayo 10,000/- oba emitwalo esatu. Kati mmaze kumpi mwaka mulamba nga n�ekikumi sikiraba.
Omulundi ogwasembayo Kamya okujja wano yandagira nteekeko abapakasi bannimire wano wonna.

Baapatana okukolera emitwalo ena n�okutuusa kati siddangayo kumulaba. Luli bwe nnagengayo ng�angamba nti mukama we yagaana okuddamu okumpa ensimbi kyokka teyambuulira nsonga. Nze muli ndowooza nti omulenzi oyo Kakooza Mutale ye yabagaana okunnyamba.

Ku Ssande nnalabye olumbe lunjiisizza kwe kusalawo okwekolera ekirango. Nze nnabikidde mukulu wange Kaziro ne Kaayabula mutabani waffe.

Kyokka ssanduuke bwe baagireese ate bazze mu kunvuma nti nnebise! Maj. Mutale yagambye ng�ayita mu mwogezi we Mw. Kyeswa nti ebya kitaawe tebimukwatako!


Reply via email to