| Omwami wa Kabaka atemedde Butikkiro omulanga mu Bulange |
![]() |
|
Owessaza ly�e Buluuli Mw.Ezekeri Kyakwambaza ng�akaaba. |
Bya Meddie Musisi
OMUSAJJA omukulu wuuno atemedde omulanga ku Bulange.
Olutuuse ku wankaaki ya Bulange n�atema omulanga ogusombodde abakozi okuva mu ofiisi za Bulange nga bw�agamba nti: �Tufudde Buganda bagitunze bagimazeewo, kati ne Butikkiro yiiyo bagitunze, atuloga wamma tannassa mbugo.�
Akubye omulanga si mulala, wabula ye mubaka wa Kabaka ow�essaza lye Buluuli, Musajjamukulu Ezekeri Kyakwambaza azze mu Kampala ekipayoppayo n�agenda ku Bulange e Mmengo oluvannyuma lw�okukitegeera nti Butikkiro etundibwa gy�atemedde omulanga ogw�omwanguka.
Kyakwambaza bino yabituuseeko ku Lwakutaano eyabadde mu kkanzu ey�omuleera ng�ataddeko ekkooti eya bululu bwe yagenze ku Bulange n�ayita ku baserikale abakuuma ku mulyango nga yenna tasalikako musale, era omulanga yagutandikidde ku wankaaki n�aggukira ku mulyango gwa Katikkiro n�atandika okukaaba nga kw�atadde n�okufukumula ebigambo bakira ebivumirira oyo yenna atunze Butikkiro.
�Nfudde nnyabo Obuganda babutunze buweddewo, ani oyo akoze kino si manyi ye ggwe Kamalabyonna?,� bw�atyo muzeeyi bakira bw�alaajana.
Oluvannyuma omuserikale akuuma Katikkiro yazze n�awooyawooya musajjamukulu ono aleme kuwowogganira Kamalabyonna kyokka nga ye yeyongera bweyongezi nga bw�agezaako n�okuyingira mu ofiisi ya Katikkiro.
Omuserikale wa Katikkiro yamufulumizza wabweru wa Bulange kyokka nga ye yeeyongera kutema mulanga nga eno bw�atadde n�emikono ku mutwe n�okukolimira eyatunze Butikkiro.
Kyakwambaza yannyonnyodde abamu ku bakozi b�omu Bulange abaabadde bamubuuza ekimukaabya nti ye ng�omusajja omukulu yabadde tayinza kuba na mirembe ng�alaba Obuganda butundibwa buggwawo.
Yategeezezza nti bwe yabadde ku ggombolola e Buluuli ng�atunda satifikeeti z�obwakabaka bwa Buganda gye baakamutemedde nti Butikkiro etundibwa era enviiri ne zimuva ku mutwe.
�Bannange munsaasire nammwe mwesaasire abakola wano kuba tetukyalina bantu balumirwa Buganda,� bw�atyo bwe yagambye.
Bwe yabadde tannnalinnya mmotoka kujja mu Kamp
ala okumanya ekituufu yagambye nti Abaluuli bangi baabadde batandise okukung�aanira mu maka ge nga bamuyeeya okuyimbirira Obwakabaka obulimu abantu abaafa empeke.
Yakubidde buli muntu alumirwa Obuganda omulanga okubaako ky�akolawo nga Butikkiro tennatundibwa.
Published on: Sunday, 22nd June, 2003 |
Tired of spam? Get
advanced junk mail protection with MSN 8.