Mr. Mulindwa,


      Please translate for Adhola.
------------------------------------------------------------------->
Welcome To Bukedde online: Uganda's leading vernacular daily

           Search:
                  Advanced Search in the Archive


Bya Ahmed Kateregga
OLWALEERO Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II , lw�asuubirwa okutuuza Omulangira Apolo Sansa ku bwakamuswaga bw�e Kooki.
Olunaku luno olw�okujjuukirirako nga bwegiweze emyaka 40 bukya Buganda ekwasibwa okwefuga okw�omunda , kati lukuzibwa nga olunaku lwa Bulungibwansi .
Buganda bwe yali tennafuuka ttwale lya Bungereza mu 1893/4 .Abawarabu n�Abazungu beewuunya obwakabaka obwali bulina gavumenti eziringa ez�ewaabwe omuli Katikkiro ,abakungu,abaami ,abataka n�olukiiko.
Mu ndagaano ya 1900, Buganda ekuumibwa (Buganda Protectorate) eyali egattiddwako Ankole, Tooro,Bunyoro ne Busoga , yafeebezebwa okuva ku ddaala ery�ensi n�efuuka emu ku pulovinsi za Uganda wabula nga yasigaza gavumenti yaayo eyali ekulirwa Katikkiro, omuwanika n�omulamuzi ng�erina n�okwerondera ababaka mukaaga ku babaka 89 ab�Olukiiko lw�e Mmengo. Naye okulonda abakungu n�abaami nga bamala kukakasibwa mubaka wa Bungereza.
Okusinziira Polof.Samwiri Karugire, mu 1953 Buganda yayagala okwekutula ku Uganda yeefuge yokka, Ssekabaka Muteesa ll bwe yayagala ensonga zaayo ziggyibwe mu ofiisi y�amatwalwe zizzibwe mu ofiisi ekola ku nkolagana ya Bungereza n�amawanga amalala endagaano za 1893,1894 ne 1900 mwe zaakolebwa kyokka Gavana n�amuwangangusa.
Endagaano ya Buganda eya 1955 yaggya Kabaka mu lwokaano lw�ebyobufuzi n�essaawo Katikkiro alina obuyinza obujjuvu ng�alondebwa Lukiiko era nga n�ababaka abasinga obungi mu Lukiiko bakubwako kalulu.
Omusomesa w�ebyafaayo mu yunivasite e Makerere Mw.Dixon Kamukama agamba nti Buganda mu 1960 yali erangiridde okwefuga okuva nga January 1 1961. Nti kyokka kino ky�agiremerera neddamu okuteeseganya ne gavumenti enkuumi.
Abu Mayanja agamba nti yawakanya nnyo ekirangiriro kino nti kubanga Buganda yali yafuuka dda ekitundu kya Uganda nga teyeetaaga kwesalako.
Konsityusoni y�okwefuga eya 1962 yawa Buganda federo ow�ekimmemmette.
Yagamba nti olukiiko lw�e Mmengo lwali lwakwerondera ababaka 21 ab�okukiikirira Buganda mu Palamenti ya Uganda , Kabaka yaweebwa poliisi , akakiiko akagaba obwami n�emirimu , Kkooti enkulu n�ebirala.
Newankubadde nga Uganda yeefuga nga October 9 1962, kyokka Abangereza baalaba nga kyetaagisa okutuukiriza omukolo gw�okukwasa Buganda okwefuga okw�omunda olw�okuba nti Ssekabaka Mukaabya Walugembe Muteesa I ye yali yabayita.
Omukolo guno ogwali mu Bulange ,gwakolebwa Omulangira Duke ow�e Kent ne mukyala we abaakiikirira Nnabakyala Elizabeth II ku mikolo gy�ameefuga.
Nga Buganda emaze okukwasibwa okwefuga okw�omunda , Ssekabaka Edward Muteesa II yagamba nti �Bannange okwefuga tukufunye naye agoba essajja...,� abantu be ne baddamu nti �alekamu ezinadda.�
Ku lunaku lw�ameefuga, gavumenti ya Kabaka yali ekulirwa Katikkiro Michael Kintu ng�erina baminisita mukaaga omwali omuwanika Masembe Kabali, ow�ebyamateeka Fred Mpanga era nga ye Ssaabawabuzi , ow�ebyemirimu ,enguudo entambula n�empuliziganya ,owebyenjigiriza Abu Mayanja oweebyobulamu n�oluvannyuma owa gavumenti ezeebitundu munnamawulire A.D. Lubowa.
Enkola ya disentulayizeesoni nayo yali yatandika dda. Okusinziira ku byasembebwa akakiiko ka Wallis mu 1952 , ebyenjigira bya pulayimala n�obulwaliro obutono byali bya kukwasibwa disitulikiti kyokka mu Buganda bikwasibwe amasaza era kino kyatandika mu ndagaano ya 1955. Abaami ab�amasaza baali basajja bagundiivu nga basabuukulula emmotoka kapyata, basula mu nnyumba ez�ebitiibwa era nga balamulira mu mbuga ezibasaanidde.
Naye ekibi amasaza gaagabanwanga amadiini ! Ku 20, Abasiraa-mu baalyangako Butambala yekka ng�agasigadde gagabanibwa Abapolosi-tante n�Abakatol-iki ! Naye oluvannyuma lwa 1955 Abakatoliki ne bagabira Abasiraamu essaza lya Lumaama e Kabula kyokka nga balyamu eggomblola emu.
Abaami ab�emiruka baalina ebitaawuluzi mwe baatawululiranga enkaayana mu miruka gyabwe nga wansi waabwe we waali abaami abatongole oba abaami b�ebyalo.
Wabula bano bonna nga tebakubwako kalulu naye nga balondebwa akakiiko ka Kabaka akagaba obwami akaakulirwanga Omulangira Haji Badru Kakungulu.
Omugenzi Karugire agamba nti abaami ba Kabaka abaali ab�ebitiibwa bwe baasikirwa aba Obote, Amin nga n�abamu Banyarwanda n�Abarundi abaali bazze okupakasa , nti abantu eby�okukola bulungi bwansi ng�okulima enguudo ne babivaako.
Newankubadde ebiddawo tebyenkanankana , naye Buganda esobola okukoppa ebirungi ebiri mu nfuga y�obukiiko bwa LC naddala okulonda abaami olw�ebisaanyizo so ssi olw�amadiini, era nga bakubwako akalulu, ekisobola okwongera okuganjisa obwakabaka mu bantu ba bulijjo naddala abavubuka.


Published on: Tuesday, 8th October, 2002

Email this article to a friend.






� Copyright The New Vision, 2000-2002. All rights reserved.





_________________________________________________________________
Add photos to your messages with MSN 8. Get 2 months FREE*. http://join.msn.com/?page=features/featuredemail




--------------------------------------------
This service is hosted on the Infocom network
http://www.infocom.co.ug

Reply via email to