Uganda's peasants, already US $4 BILLION in debt -- according Minister of Finance and World Bank publications, have been further burdened by Africa's negeneration of clear headed leadership to the tune of 230,000 sterling pounds to purchase a new Range Rover for H.E Gen. Museveni.

 

That is on top of a US $40 MILLION Gulf Stream, a US $1MILLION Mercedes Benz,  a multi-million dollar helicopter recently requested, US $70MILLION requested to REFURBISH the Entebbe State House, etc, etc, ad infinitum ...

 

And you thoughtZaire's  Mobutu Sese Seko wa Zabanga lived in luxury!

 

 

Read about it for yourself in the attached news items.


Do you Yahoo!?
New and Improved Yahoo! Mail - Send 10MB messages!
--- Begin Message ---

Mwesibe bbiri amabanja gatutuga � Minisita Sendaula

Bya Annet Nakate

MINISITA w�ebyensimbi Gerald Sendaula agambye nti ebbanja Uganda ly�erina mu Bazungu lyeyongedde nga kati tubanjibwa obuwumbi bwa doola obusoba mu buna.

Sendaula yategeezezza nti engeri Uganda gye yeewolamu ssente okuva mu mawanga g�ebweru tekyagumiikirizika, kwe kusaba bannayuganda okwesiba ebbiri okutandika okwekolera ssente eziyimirizaawo eggwanga.
�Ekiwundu kisambye eddagala amabanja gatuli mu bulago kyokka nga buli lunaku minisitule ez�enjawulo zisaba zikkirizibwe okwewola ensimbi okuddukanya emirimu gyazo.� Okwogera bino, Minisita yabadde mu musomo ogwetabiddwamu ababaka ba palamenti n�abakungu okuva mu banka ya Uganda, ogwabadde ku International Conference Centre mu Kampala ku Lwokutaano.

Sendaula yagambye nti Uganda yasonyiyibwa ebbanja lya buwumbi bwa doola busatu n�okusoba kyokka era tukyali bubi nnyo.

Published on: Sunday, 25th July, 2004

Pulezidenti aleese emmotoka emenye likodi. Ya 800,000,000/=

Bya Musasi Waffe

PULEZIDENTI Museveni alagirizza kapyata e Bungereza okunyweza ebyokwerinda kwe emenyewo emmotoka zonna mu Uganda.

Mmotoka eno Range Rover, Abangereza bagitaddeko buli kantu akeetaagisa olw�okwerinda kw�omukulembeze w�eggwanga emuweese n�ekitiibwa kye ekya Pulezidenti.

Baagikoze mu kyuma ekigumu ennyo ate ku ngulu ne bagiyooyoota n�okugitona n�amaliba ag�ebbeeyi, amayinja ag�omuwendo ate munda etemya nga muntu.

Kkampuni ekola Range Rover, eno y�emmotoka esinga ebbeeyi mu ze yaakakola era tevugibwangako muntu wabulijjo. Egyefaananyi-rizaako esuubirwa kusabuukululwa mu 2005.

Range Rover ey�omulembe eriwo eyafuluma omwaka guno (2004) eva mu kkolero ku pawundi 60,995 (eza Uganda 213,000,000).

Eya Museveni ekigituusa mu bukadde 800 by�ebintu ebyenjawulo Ebyokwerinda bye bagitaddemu gattako n�endala egiwerekerako bwe ziwuliziganya olwo bwe wabaawo omutawaana n�egiyambako.

Emmotoka eno, y'eddiridde ey'omuduum izi wa UPDF, eyagulibwa Maj. Gen James Kazini eyamalawo obukadde 300.

Ebimu ku bigiriko;
Yakoleddwa mu kyu-ma ekigumu ennyo omutayita masasi wadde okuku-bwa bbomu y'omu ngalo ekiyitibwa 'Ballistic steel'.

Endabirwamu zaayo za mubiri omugumu (21mm) ate nga zikyukakyuka n'embeera y'obudde okulemesa abali ebweru okulaba abali munda ate nga bo abali munda babalaba bulungi

Enzigi zaayo zisiba emirundi ebiri (munda n'ebweru, ate ekisumuluzo kyazo tekyokebwamu kirala.
Erina kamera mu mattaala ag'omumaaso eziketta omulabe n'ebissi mu mayiro ezisoba mu bbiri.

Erina ttivi ekwata ebiri mu kitundu kyonna kamera ky'etuukamu ng'eyo esobozesa ddereeva okulaba ebiri mu maaso, emabega n'ebbali n'ebbali.

Edduka mayiro 300 buli ssaawa kwe kugamba esobola okuva e Kampala n'etuuka e Mbarara n'ekomawo mu ssaawa emu yokka ssinga ekkubo teribaamu binnya na mmotoka ndala oba makoona manene.

Erina ebuuma obuwunyiriza (sensor) obwenjawulo omuli obuketta empewo, obulaba ebintu ng'obutwa, waliwo obuwunyiriza obuganga, obuketta akabenje n'obulabula ku mbeera y'obudde.

Emmito gyayo gikolera ku masannyalaze nga gisobola okukyukakyuka mu ngeri za mirundi musanvu.

Pulezidenti w'atuula wayinza okufuulibwa ofiisi oba obuliri n'ebintu ebirala okusinziira bw'aba ayagadde.

Singa wabaawo akabenje, mmotoka erina ebisawo ebiyitibwa 'Air bags' buli ludda ebisobola okubuutirira dereeva n'abalala bonna abagituddemu obutalumizibwa.

Emmotoka entono egiwerekera mwe muli effumbiro, ekinaabiro n'ebirala ebyekikungu.

Ebirala ebiri mu mmotoka eno birekeddwa olw'ensonga z'ebyokwerinda. Esuubirwa okutuuka essaawa yonna.

Published on: Sunday, 25th July, 2004


--- End Message ---

Reply via email to