Edward:
 
Mengo tesolooza musolo n'olwekyo telina simbi zakulonda Lukiiko.  Olaba Mengo namasanyalaze n'abakozi bibalemererwa okusasura ebiseera ebisiinga.  Olwo lwolowooza nti ezokulonda olukiiko zebalina.  Mengo esabiriza busabirizi mu kutunda Buganda Certificates.
 
Bwadde olukiiko sirulonde, abalukiikamu tebasasulwa.  Singa lulondebwa abalukiikamu baba balina okusasulibwa nga ba MPs bwe basasulwa omusaala.  Ezo sente Mengo tezirina, tesolooza musolo.  Tojjigereza ku gov't ya Uganda esolooza omusolo n'ogatako sente zaba Donors (Britian, USA, Germany, etc) kyokka nga banaffe abali engulu mu lutalo (Northern War) baffa njala, nga kwotadde okubatulugunya n'okubatta kubiragiro bya Museveni.
 
Mengo tejjigeza ku gov't ya Uganda.  Okujjako nga Buganda n'ebitundu bya Uganda ebirala byona biweeredwa Federo (nga n'okusolooza omusolo mwotadde).  Awo Mengo lwejja okusobola okusasula sente z'okusawo okulonda kw'olukiiko.
 
Yye gwe! Omanyi sente ezetagisibwa okusaawo okulonda Olukiiko?
Njagala kumanya oba byoyogerako obitegeera.
 
Okusinziira kundowooza yange nebyempagira, Olukiiko lwe Mengo bwadde salukubako kalulu lunkikiride bulungi nyo kunsoonga zempagira, era nduwagira.  Njaduwagira pakka Federo bwenewebwa Buganda n'ebitundu ebirala, Mengo esolooze omusolo esobole okkusawo okulonda kw'olukiiko.  Naye kati nga Mengo bwetalina sente ezo, ekikulu ssi kukuba kalulu ku Lukiiko, wabula nti Olukiiko luwagira kyempagira era lunkiikirira??  Ekyo kekirimu amagezi kati okusinziira kumbeera nga bweeri e Mengo.
 
 
Zakoomu M.
 
=================================================================

Edward Mulindwa <[EMAIL PROTECTED]> wrote:
Musooke muddeyo e Mengo mufune olukiiko olulonde.
 
Em
Toronto
 
 The Mulindwas Communication Group
"With Yoweri Museveni, Uganda is in anarchy"
            Groupe de communication Mulindwas
"avec Yoweri Museveni, l'Ouganda est dans l'anarchie"
==================================================================
----- Original Message -----
Sent: Wednesday, September 22, 2004 8:10 PM
Subject: [Ugnet] Re: Palamenti eneeba n'obuyinza okuggyako Kabaka!

Mw. ...
 
Ah!  Kino kyo kitususeeko!  Oba kati waliyo ababaka bamekka abasobola okuwagira etteka bwerityo?  Nze ndowooza waliwo abajja okuliwagira nga Mu7 abawadde sente n'abasasulira amabanja.  Kitalo nyo banaffe!  Katikkiro byeyagamba eby'okusabira Kabaka n'Obuganda olw'ebiseera ebitujjirira mumaaso bibino bitukirira.
 
Tewali njawulo wakati wa Mu7 ne Obote.  Oyo Mu7 wamu n'Obote wakwo batta Abaganda e Luwero - ekyo temukyerabiranga!  Mulekere awo okwerimba mwekka nti Mu7 teyatta Baganda e Luwero, oba nti Obote yekka yeyatta; bonna batta Baganda banaffe e Luwero nemu Kampala.
 
 
Zakoomu M.
 
================================================================

... ... ... <[EMAIL PROTECTED]> wrote:

Bannange ensonga nnagikoonako mu e-mail yange 'Ensi egudde eddalu?'. Mwetegereze nti kino kigoberedde Bunyoro okuwabira Kabaka mu mbuga za mateeka. Kabaka bwanagaana okugenda mu kooti nga tebatuma baserikale kumukima? Yensonga y'emu eyelambika obulungi bwewetegereza engeri gavumenti gye cwacwalikana ne Mengo nokulabula Mengo. It seems Mengo is warned either to back the movement or to be resolved. Kuno bwogattako sad term negujabagira. Gyetulaga erabika ekutte kazigizigi!

 

================================================================

Byokya

Bya Ahmed Mukiibi

ABABAKA abamu beesoozezza minisita Hajati Janat Balunzi Mukwaya bwe yayanjudde ekiteeso ekiwa palamenti obuyinza obuggyako Kabaka.

Ekiteeso kigamba: Kabaka oba omufuzi yenna ow�ensikirano anaamenya konsitityusoni, palamenti eneeba n'obuyinza obumuggyako.

(The traditional or cultural leader is subject to the constitution and if he violates the constitution, he will be removed from office by parliament.)

Bino biri mu kiwandiiko kya gavumenti ekya White Paper minisita kye yayanjulidde palamenti eggulo. Ekiwandiiko mwe muli ebirowoozo ku kukyusa konsitityusoni. Muno mw'etadde ne federo gy'eyagaliza Buganda.

Minisita yabadde tannamalayo nsonga eno abamu kwe kwesooza n'okunyeenya emitwe abalala ne baseka mu ngeri y'okwewuunya. Abamu baawuliddwa nga beebuuza nti "gavumenti ebadde ki?" n'abalala nti "Ebintu nga bigenze wala."

Embeera eyo yawalirizza Mukwaya okusiriikiriramu, sipiika Edward Sekandi asobole okukkakkanya ababaka. Bwe baasirise Mukwaya yabannyonnyodde nti Pulezidenti bw'aba asobola okuggyibwamu ne baminisita tusobolaokuggyibwako obwesige, nammwe (ababaka) musobola okugobwa, lwaki ye Kabaka abeera waggulu w'amateeka?

Olwo Mukwaya yabadde yaakamala okunnyonnyola ababaka nti gavumenti etadde mu White Paper ebirowoozo bya mirundi ebiri ku by'obukulembeze bwa gavumenti ezebitundu, bo ababaka be banaasalawo.

Ebirowoozo bino mwe muli eky'enkiiko ebbiri okubeera e Mmengo n'ebitundu ebirala eri abafuzi b'ensikirano ng'olumu lwa byabufuzi olulondeddwa obutereevu n'olulala olw'ebyobuwangwa olujja okubaamu Abataka. Oba olukiiko lumu olulonde kyokka ng'a lulimu n'ababaka b'ebyobuwangwa.
Ebitundu eteri bafuzi ba nsikirano ejja kubaayo olukiiko lumu lwokka.

Ensonga endala eziri mu White Paper gavumenti ewagira okuggyako ekkomo ku bisanja Pulezidenti by'alina okufuna kyokka palamenti y'ejja okusalawo eky'enkomerero.

Ku kukyusa okuva mu muvumen ti okudda mu bibiina kijja kukubwako akalulu k'ekikungo olwo palamenti eryoke ekyuse akatundu 74 aka Konsitityusoni.

Okulonda kwa pulezidenti, ababaka ba Palamenti ne bassentebe ba LC5 kubeewo ku lunaku lumu.

Gavumenti esemba Bannayuganda okukkirizibwa okubeera n'obutuuze obw'emirundi ebiri (obwa Uganda n'eggwanga eddala).

Sipiika Sekandi yategeezezza ababaka oluvannyuma nti agenda kubata baddeyoko mu bantu babeebuuzeeko ku nsonga z'okukyusa mu konsitityusoni, kyokka n�abasaba nti ekiseera bwe kinaaba kituuse eky�okuteesa ku nsonga eno, bakulembeze ebirowoozo by'abantu be bakiikirira sso si ebyabwe.

Published on: Wednesday, 22nd September, 2004



Do you Yahoo!?
Take Yahoo! Mail with you! Get it on your mobile phone.


Do you Yahoo!?
New and Improved Yahoo! Mail - 100MB free storage!


_______________________________________________
Ugandanet mailing list
[EMAIL PROTECTED]
http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet
% UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/

Yahoo! Groups Sponsor
ADVERTISEMENT
click here


Yahoo! Groups Links


Do you Yahoo!?
New and Improved Yahoo! Mail - Send 10MB messages!
_______________________________________________
Ugandanet mailing list
[EMAIL PROTECTED]
http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet
% UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/

Reply via email to