Mmengo
tenafuuna nkola nambulukufu kwetambuliza
mirimu
Pulofeesa
Ssemakula takyeesiga Museveni kumukuuma
Ekirowoozo: Buganda esobola �okuwamba�
Federo nga tekubye mundu
Abaganda
basanyukidde Mmengo okuva mu kusabiriza Federo
Mukono (Kyaggwe), Mengo (Kyadondo), ne Boston (America)
Abaganda bangi, nga mwemuli
n�Abataka abawera, basanyukidde nnyo ekya Mmengo okusalawo n�eva
mu kuteseganya ne Yoweri Museveni ku bya Federo. Ensonga
eyabadde esinga okuweebwa abo betwatukiridde yabadde nti, ne
Mengo byebadde esaba byenyini Abaganda bibatwaala mu buwambe. Ku
luno twayogeddeko n�abe Mukono, mu Kyaggwe, ku lwa Sebutemba 3.
Twasoose kwogera ne Onyango eyatutegezezza nti Mujapadoola
n�alyooka agamba nti, �Nze ndowooza abe Mengo naffe abatali
Baganda batukola bubi bwebakiriziganya ne Museveni ku Federo
emboofu. Ffe Abaganda tunabaddawa senga obwaavu bunabatuusa
okugamba nti buli atali Muganda yeyabubaletera? Nze mukulaba
kwange, babadde balowoleeza kumpi. Berabidde nti Museveni muntu
era ajja kuvaawo ate nga Abaganda ggwanga era bazaala?�. Nnamukadde Ssebuyira
eyabadde ava okukyaalako e Katosi yasanyukidde nnyo Katikkiro ne
John Katende byebayogedde mu Lukii ko. �Ddaaki abe Mmengo
batandise okugondera Ssabasajja, eyatukakasa nti Federo entuufu,
yeeyo, ekomyaawo Obuganda ba Jajja ffe bwebatulekera. Wabula si
Federo enyweeza Bidandi Ssali ne Museveni byebatuleetera. Kati
vva wano ogende okutukira ddala e Katosi oba e Nazigo, ebyaalo
bijjudde Abanankole n�Abanarwanda Museveni baleese wano jjo lya
balamu, kati bebafuga Abaganda. Ate nga mu Ankole ne Bunyoro
Abaganda bagoba bagobe? Kirungi nnyo Ssemwogerere ne Katende
obutateeka Mutebi
mu byafaayo nga Kabaka eyagabula Buganda eri Abanankole.�
Mu Bulange yo agavaayo simangu nnyo
kutegeera. Enseke zaffe e Mmengo zitutegeeza nti waliwo bangi
abasanyuse okulaba nti, n�abatugamba bulijjo nti Museveni
mukwaano nnyo gwa Baganda, alaze nti ddala tebamutegeera
butegeezi. Naye ate waliwo abalala, naddala abo abaganyulwa
ennyo mu nkola eriwo e kati Mengo, abawotokerevu era nga
bakyanyigiriza nti, �Ssebo, kano akakisa tetuusaana kukasubwa.
Tutwaale, konna omusajja kaatuwa�. Nga ebyo bikyaali awo, enseke zaffe mu NRM
zitutegeeza nti
Museveni yalagidde dda Amelia Kyambadde, Richard Muhinda, ne
Naava Nnabagesera okukozesa ku ssente okukomyaawo Mengo mu
kuteesa. Wabula tetumanyi oba ensimbi zino zitandise okuwa ba
�Tudeeyo tuteese� amaanyi e Mengo.
Okumanya Abaganda abali ku mawanga
bwebalowooza, twakubidde omuzaana wa Kabaka, Mbatudde owe
Boston, eyabadde ku mikolo mu Seattle, America. Yayimye ku �buli
wooli nkufuna� eya �roaming� natugamba nti, Abaganda bangi mu
America babadde n�endoowoza nti abe Mengo Museveni yabagula dda.
Era kyabewunyisizza n�okubasanyusa ennyo okulaba nga John
Katende ayogera mu ddoboozi ery�omwanguka nti �eby�okuteesa
tubivuddemu�. Naye Mbatudde yalabudde nti, okuva ku bulimba bwa
Museveni bweyakamala okwelabirako mu Seattle, atya nti,
ono asobola okuba katemba kuzanyira ku bwongo bwa Baganda.
Yabitadde mu Luzungu nti, �The jury is still out. Remember that
the people involved were buddies at Dar es Salaam University.
So, you can�t rule out games.� Ekivvunurwa nti, �Amagi
teganaalulwa. Jjukira nti abali mu bintu bino ennyo baziluunda
bonna mu Yunivasite ye Dar es Salaam. Kale eky� obuzannyo
tosobola kumala gakigaaana�.
Mmengo
tenafuuna nkola nambulukufu kwetambuliza mirimu
Ebivudde mu kubuliriza kwa kakensa waffe
okumaaze sabiiti 9 bilaga nti Mmengo talina nkola nambulukufu
kwetambuliza mirimu. Mu kubuliriza kuno kakensa waffe,
yakyaalira Bulange nayogerako n�Abaganda abaali
bbaze okukola ku nsonga zaabwe era n�abakozi
mu Gavumenti ye Ssabasajja. Ate era yeebuza ne ku nseke zaffe mu
Bulange era n�okukozesa bwino eyafunibwa okuva ku NRM
Secretariat.
Essira okubuliriza kwaalissa ku nnyingo
ssatu. Esooka, y�enkola omuyitibwa okufuna omulimu oba
obuvunanyizibwa e Mmengo. Eyokubiri, y�enkola y�okuzuula era
n�okukangavula abo abalagajalira omulimu gwaabwe. N�eyokusatu ye
ya �accountability�, ekitegeeza nti buli muntu asalawo ku mirimu
ne sente bya Kabaka atekwa okunyonyolanga, biki byeyasalawo,
lwaki yasalawo mu ngeri gyeyasalwo, era ne sente ezakozesebbwa
wezaalaga.
Ku
by�okufuna emirimu e Mmengo, tewali nkola nambulukufu. Wabula
twakizudde nti waliwo abemulugunyaako eddako era Katikkiro
nalangilira nti abagala emirimu bajje okwewandiisa ku Bulange.
Naye tewaalabisewo bujulizi nti bekikwatako balina kyebakolawo
eky�enkalakalira. Okutwaalira awamu, Mengo talanga mirimu.
Wabula twakizudde nti CBS oluusi yo elanga, olwovuganya
okwamaanyi okuliwo ne zi radio endala.
Mu buwanga bwa Buganda Sabasajja tanyagibwa
Muganda. Era waliwo Omugave omu eyabulankanya ebya Ssekabaka
Muteesa emyaaka nga 45 egiyise naye nakati akyajjukirwa nnyo.
Wabula waliwo obujulizi e Mmengo nti okubba ebintu bya Kabaka
Mutebi gufuuse musono. Ebyokulabirako. Emyaaka mitono emabega
waliwo mutabani w�omukungu omu eyabba sente okuva mu CBS, nga
zigenda mu Kibiiina ky�Oluganda. Naye, kitaawe (omukungu)
bweyabiyingiramu, nebasalawo nti liffuke bbanja, basalenga ku
musaala ggwe buli mweezi. Waliwo n�omukyaala we Nakawa eyalya bukadde kumpi
100, ez�okutandika Royal Technical Institute, naye ebigambo
�bwebyayogerwaamu�, nekifuuka kyaama. Ate newabaawo ne Minista
wa Ssabasajja mulamba eyakwaatibwa lubona mu Lubiri nga anyaga
ebintu bya Beene.
Wewaawo yagobwa ku bwa minisita, naye omusajja ono ne
leero akyayiingizibwa mu mirimu gya Sabasajja era mu Bulange
bakyamwogerwa ako nga
�Ow�ekitiibwa�.
Ku nsonga ya �accountability� kakensa waffe
yakakasibbwa abakozi 5 mu Bulange nti waliwo Abakungu
abatwaala Satifikeeti za Buganda okuva ku Muwanika okuzitunda ku
mikolo naye ssente ne bazirya. Ate waliwo n�oluvuvuumo mu
Bulange nti waliwo abakungu abatono abatabuuzibwa bya
�accountability� naye ate nga, olw�okuba nti bamaanyi nnyo e
Mmengo, tewali kintu kya ssente nkumu kikolebwa nga
tebakiyingiddeemu.
Alipoota ya Kakensa egamba nti ebintu
ebinayaamba Katikkiro, n�abakungu be abafuba ennyo okutambuza
emirimu gya Ssabasajja, okwanganga abo abalemesa mwemuli bino
:
1.
Okusala ennyo ku baminista ate ejjewo ne baminista
abakola nga banakyeewa. Kiri mu musana nti ssenga Mmengo ebeera
ne baminisita nga 8 abalina obusobozi, nga basasulwa omusaala
mulungi, senga �accountability� nyangu. Enkola ya Museveni
ey�omujjuzo gwa ba Minisita, Mmengo gye yakoppa, ttekiriza
�accountability�.
2.
Okuteekawo okuvuganya ku mirimu mu Gavumenti ya
Sabasajja. Kubanga,
mu mateeka ga Museveni ebya Kabaka bya buwangwa emirimu
girangibwenga n�okusabibwa okuyita mu bakulu b�ebika. Abaganda
abatalina bika, nga Abaluuli, bayinza okuyita bakulu baabwe abe
nnono.
3.
Okukozesa tekinologiya okuteeka emirimu gyaayo ku
mutindo. Tewaali kya kwekwaasa lwaaki, leero, Mmengo telina
kompyuuta emu ennene okuli amanya n�emisoso gya buli muntu akola
mu Gavumenti ya Kabaka.
4.
Okugumikiriiza, okusonyiwa, n�okusisitira ababbi
n�abakenuzi (the corrupt) birina okukoma mu mirimu gya
Ssabasajja. Enkola ya Museveni eno okukirizibwa e Mengo
kyekireteera abantu bangi, ne Museveni yennyini, okugamba nti, �Abali e Mmengo
bonna babbi bubbi�. Omubbi oba omukenuzi yenna alina okutwalibwa
ku poliisi, okugobwa, era n�okuloopebwa eri Abakulu b�ebika.
Alipoota emaliriza nga etangaaza nti Abaganda
abali mu Buganda awamu ne ku mawanga bandiwagidde nnyo Mmengo
ssenga ebya ssente, okugaba emirimu, obuyinza, n�okukangavula
abazigamya emirimu gya Sabasajja bitekeebwa mu musana. Okugamba
nti Mmengo atya balabe baffe kumanya, byaama kwekwaasa.
Pulofeesa Ssemakula takyeesiga Museveni
kumukuuma
Kampala (Kyadondo)
Enaku ntono emabega, musajja wa
Museveni, Semakula Kiwanuka, yagenda ku offiisi y�olupapula lwa
Monitor naloopa nti waliwo Abaganda abamulinya akagere, nga
bagala kumutta kubanda tawagira Federo gyebetaaga. Nga bw�afeesafeesa,
Ssemakula yalaajana nga bwalwaniridde ennyo ebya Buganda. Era
nti yalawana nnyo okukirizisa Museveni awe Mengo ssente
z�okumaliriza Tweekobe.
Ku lw�omukaaga twagenzeeko mu Kiyembe
(waggulu wa paaka enkadde mu Kampala), tuwulire ebirowoozo bya
Baganda ku nsonga eno. Omukyaala omu atuunda waya za masanyalaze
yatugambye nti, �Tombulira, oyo ffe ab�Olugave omusajja
yatuswaaza dda eri Obuganda. Takiririza mu bintu bya Buganda,
era ebyo byalogotana ayagala kwelunjiya eri mukamaawe.� Ate
Kiyingi eyazze okugula waya ye nagamba nti, �Okumanya ensi
egudde eddalu, oba nga Ssemakula yatufunira ssente za Tweekobe,
lwaaki tegwanga?� Nayongerako nti, �N�owolugave omulala ali a
Mengo era bwatyo si bweyalimba Kabaka ne Katikkiro ku nsonga za
Butikkiro?�.
Lwanyaaga akolera ku Platinum House ye yawadde
Pulofeesa magezi
nti, �Mukifo ky�okuloopa mu Monitor, agende aloope ewa mukama
we. Mpozzi nga Pulofeesa takyesiga Museveni kumukuuma.�
Ekirowoozo: Buganda
esobola �okuwamba� Federo nga tekubye
mundu
1.
Mmengo eyanguye okusaawo enkola ennambulukufu
(transparent) okutabumbulira emirimu gya Sabasajja, nga eraaga
engaba y�emirimu, enkangavula y�abazingamya emirimu, ensasaanya
ya ssente, ne �accountability�.
2.
Mmengo ayanguye okuwandiisa Abaganda abali ku butaka ne
ku mawanga ku kompyuuta, kyanguye emirimu gya Sabasajja emirala,
nga mwotadde n�okulonda Olukiiko Buganda lweyetaaga (laba 5
wansi).
3.
Mmengo ayanguye mangu okusaawo ekitongole kya Buganda
Employment Agency, ekyesigama ku bika bya Baganda
okunonyeza,
okusunsula, n�okufunira Abaganda emirimu era n�okuyamba
abakozesa abanoonya abakozi abalungi nga Baganda.
4.
Mmengo eyanguye okusaawo ekitongole ekikwaataganya
Gavumenti ya Ssabasajja n�Abaganda abali ku mawanga
okuwanyisiganya ebirowoozo, amagezi, n�okubukugu ku mirimu,
tekinologiya n�ebyensimbi.
5.
Katikkiro asabe Kabaka n�Abataaka bakiriize Buganda efune
Olukiiko lumu olw�omulembe era olwa demokulaasi aggumiza
obuwangwa bwaffe. Tuteesa nti Buganda yetaaga Olukiiko lwa bantu
76. Buli kika nga
kisemba abakazi 2
n�abasajja 2 okuvuganya ku bifo by�ababaka 40 ab�ebika;
ate buli ssaza lya Buganda neliweereza abantu 2 (okuweza 36) abalondebwa
obuterevu, nga ababaka b�amasaza.
6.
Mmengo ekyuuse entegeka za Kabaka ne Nnabagereka, essira
ly�emirimu gyaabwe libeere ku kuganda n�okubudabuda Abaganda, so
si ku kusanyusa Banamawanga, entasiima.
Ebyo wagulu bya kulabirako era birina
okugendeera awaamu n�emirimu egy�ettendo nga BUCADEF ne CBS
Mmengo gy�ekooze. Ekikulu kwekukyuusa omulamwa netuggujja ku
�kwegayirira batuwe Federo� netugussa ku �kweganda, n�okudda ku
buwangwa bwaffe, tuziimbe Buganda etetaagisa Banamawanga
kutununula nate�.
Ssabasajja Awangaale!
Omukungaanya wa mmwe.
(buli ategedde tegeeza
munnowo)