�Bafitina Baganda�

 

Tayeebwa (ku ddyo) ng�alamusa ssentebe wa Disitulikiti y�e Masaka Vincent Ssempijja mu musomo. 

Bya Eddie Ssejjoba

 

Omusomesa w�ebyamawulire mu Yunivasite e Makerere, William Tayebwa awagidde eky�okufuula Oluganda olulimi olw�eggwanga kuba lwe lusinga okwogerwa mu Uganda. Yagambye nti waliwo bannabyabufuzi abalina akakuku ku Baganda abagezaako okukiwakanya.

 

Bino Tayebwa yabyogeredde mu musomo gwa bannamawulire abava mu Disitulikiti omuli Rakai, Ssembabule, Kalangala ne Masaka ogwabadde mu Hotel Brovad e Masaka.

 

Gwategekeddwa ekibiina kya Uganda Media Development Foundation ekikulirwa John Bosco Mayiga ne gusasulirwa ekitongole kya Konrad Adenuaer Foundation.

 

�Nze ndi Munyankole era nzaalibwa mu Munisipaali y�e Mbarara naye buli mutuuze ewaffe amanyi okwogera Oluganda. Nnabadde Lira, naye ng�oluganda lwogerwa bulungi,� Tayebwa bwe yagambye.

 

Yagambye nti eky�oluganda okubeera nga lwe lusinga obuganzi n�okwogerwa wonna tekyetaagisa kuteesebwako kuba bangi bakimanyi.

Published on: Tuesday, 15th March, 2005

 

Federo ya Buganda erimu obutwa -Bidandi

Bya Muwanga Kakooza

EYALI minisita Bidandi Ssali alengedde bw�ayise obutwa mu federo eyaweereddwa Buganda era ategeezezza nti agenda kusisinkana Katikkiro Mulwannyamuli Ssemwogerere abumulage.
��Eby�okuba n�olukiiko olumu olulimu bannabyabufuzi [abalonde] n'ababaka b'ebyennono butwa bwennyini. Ab'ebyennono bajja kubuusibwanga amaaso. Enkiiko zandibadde bbiri'' Bidandi bwe yagambye.

Yabadde ali ku pulogulaamu ''mannya eddembe lyo'' ku leediyo ya CBS mu kiro ekyakeesezza Mmande.
Bidandi era yawakanyizza ekya Katikkiro okulondebwa abantu bonna ng'akubwako akalulu n'agamba nti kigenda kuvaamu okwawulayawula mu Baganda okuva okulonda bwe kugenda okuba ku musingi gw'ebibiina byobufuzi.

Munnabyabufuzi ono eyagambye nti amaze emyaka nga 40 mu mulimu guno yategeezezza nti ebibiina ebinabanga tebisobodde kufuna Katikkiro olw'okubulwa obuwagizi mu bantu biyinza okusalawo obutatwala Katikkiro anaabanga alondeddwa ng'ensonga.

Published on: Tuesday, 15th March, 2005

Abalonzi abamu tebakkaanyizza na Birimumaaso ku Federo

Bya James Mbaziira

Bannamasaka abamu abava mu Bukoto West banaabidde omubaka waabwe Mulindwa Birimumaaso mu maaso ku nsonga za Federo Mmengo gye yakkaanyizzaako ne gavumenti ne bagamba nti bali mabega wa Katikkiro.

Mu lukiiko lwe baatuuzizza ku mbuga y�eggombolola e Kyazanga mu Masaka ku Ssande, abatuuze beesambye omubaka waabwe Birimumaaso ne bamugaana n�okwogera gye bali olwa kye baagambye nti yalaba Kabaka mu kamwa.

Birimumaaso (ku ddyo) awakanya Federo Gavumenti gye yakkaanyako ne Mmengo ng�agamba nti abantu be tebagiwagira, kye baagala y�enkola eya Disentulolayizesoni.

Published on: Tuesday, 15th March, 2005




Do you Yahoo!?
Yahoo! Small Business - Try our new resources site!
_______________________________________________
Ugandanet mailing list
[email protected]
http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet
% UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/

Reply via email to