Ssemakula <[EMAIL PROTECTED]> wrote:

Olukiiko Lw'Abaganda mu S. California: June 4th, 2005 

 

Bannange mwenna mbalamusizza nnyo.

 

Ekimpandiisizza kwekubajjukiza nti olukiiko oluddako lwakubaawo nga

ennaku z'omwezi ogujja nga nnya ,

 

June the 4th. 2005 ku ssaawa mwenda ez’olweggulo. Olukiiko lwa kutuula:

 

14553 Delano Str #270 (ku nsisinkano ya Delano ne Vesper)

Van Nuys, CA, 91401

 

Bino byetusuubira okukkanyako mu lukiiko luno.

 

1. Tujja kutongoza abanakiikirira ebika.

 

2. Tujja kulonda abakulembeze b'ekibiina (Executive Committee). Amannya

gennaakafuna geegano wansi. Wabula era nkyalindirira ammannya amalala naddala okuva eri abakyala:

 

Senyumba P. Zake, Damiano Kigoye, Denis Kavuma, Frank Mwanje, Ndugwa ne

Mw. Male.

 

Amannya gano gajja kusooka kukakasibwa lukiiko lwa bika nga

tegannakubwako kalulu.

 

Ndi Ssentebe w'akakiiko akekiseera.

 

F. Mwanje.

 

 

Kamalabyonna, Katikkiro wa Buganda, Owek.  J.G. MULWANYAMMULI SSEMWOGERERE, aja okulambula abantu ba Kabaka mu  Amerika mu June ne July, era nga asookera mu Ggwanga Mujje NY/NJ.

__________________________________________________
Do You Yahoo!?
Tired of spam? Yahoo! Mail has the best spam protection around
http://mail.yahoo.com

_______________________________________________
Ugandanet mailing list
Ugandanet@kym.net
http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet
% UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/

Reply via email to