Abanene abaalya eza siriimu babaanise
Bya Ahmed Mukiibi ne Angel Lubowa
KKAMPUNI zabanene mu gavumenti abaalya obuwumbi 80 ezaali ezeddagala lyabalwadde ba siriimu zaanikiddwa.
Abagezigezi bano basoose kutondawo bibiina byobwannakyewa ebyekimpatiiira ne babissaamu abenganda ne mikwano gyabwe oluvannyuma ne babisemba mu gavumenti okufuna ssente okulwanyisa siriimu, omusujja gwensiri nakafuba.
Abalala bo tebaamaze biseera kutondawo bibiina wabula ssente baaziridde butereevu nga bayita mu kuginga lisiiti ezenjawulo omuli eza wooteri, ezamakampuni agapangisa mmotoka gattako emikono, nebiwandiiko ebirala ne bafunirako ssente ezobwereere.
Bino biri mu lipoota eyemiko 121 ababazi bebitabo abali ku mutindo gwensi yonna aba Pricewaterhouse Coopers kye baakoze oluvannyuma lwokulondoola ensimbi ddoola obukadde 45 (eza Uganda 80,000,000,000/-) ezibadde zaakaweebwa Uganda okuva mu nsawo yensi yonna eya Global Fund okulwanyisa siriimu, omusujja nakafuba.
Ssente endala 210,651,550 aba Pricewaterhouse Coopers baazudde zaasaasaanyizibwa ku bintu ebitalina kakwate na kulwanyisa Siriimu, mussujja oba kafuba .
Okugeza waliwo ezisoba mu bukadde 39 ezaaweebwa akulira ebyobujjanjabi mu ggwanga Polof. Omaswa okwetaba mu nkungaana e Norway, Amerika, Bufaransa, Switzerland ne Rochester. Endala obukadde 12 zaaweebwa Muky. Catherine Omaswa okugenda mu musomo mu Amerika.
Waliwo obukadde 120 ezaasasulwa ensako yabakungu mukaaga ba Minisitule eyebyobulamu ate obukadde 19 zaabwe omuwandiisi owenkalakkalira owa Minisitule eyebyobulamu okulambula emirimu gya Minisitule eno.
Obukadde bubiri zaweebwa abakozi bekitongokle kya Project Monitoring Unit (PMU) ngensako ya Ssekukulu, ate 4,873, 392 aba PMU baazeeyambisa okupangisa ennyonyi okutambuza abagenyi baabwe mu Arua. Ssente endala 949,500 zeeyambisibwa okukyaza abakungu ba Minisitule eyebyobulamu eya Rwanda are 8,459,200 zeeyambisibwa okukyaza abakugu mu byobulamu okuva mu Thailand.
Ebibiina byobwannakyewa 23 bye byatondeddwawo mu ngeri eyekimpatiira era Pricewaterhouse Coopers baagambye byamu kikapu kubanga tebirina biwandiiko bibyogerako.
Ebimu ku bibiina bino mulimu Kifamba Zukuka HIV Prevention Project , Buruli Anti Aids Crusade, Kira Youth Action, Kitimbwa Medico Society, Ngabo Development Association, African Families Support Organization, Association of Wakiso Women, Campus Alliance to wipe out Aids nebirala.
Ebibiina ebirala mwenda byo byewandiisizza nga bimaze kuweebwa ku ssente ezokulwanyisa siriimu. Mu bino mulimu Kyengera Women Against Aids, Bunyole Womens Association , Youth Talkie Magazine nebirala.
Essomero lyabakungu be Mmengo erya Data Mine lipoota egamba nti baalemwa okulaga ensaasaanya yobukadde 32 ku nsimbi zino ezaabaweebwa okusomesa abalwadde ba siriimu.
Wabula Matthias Mpuga alikulira yategeezezza nti abaakoze okunoonyereza tebaatunuulidde biwandiiko byonna.
Ssente zonna twazikoleredde bwe twatabadde mu Kisenyi, Mulago, Katanga newalala. Ekibi bannaffe abanoonyereza tebalinze kwebuuza ku bakungu ba minisitule be baabadde babuulirizako abandibadde babalaga ebiwandiiko kwe twakolera era kino si bwe kikolebwa mu kunoonyereza, bwe yategeezezza.
Lipoota egamba nti kkampuni zemmotoka abakungu ba gavumenti ze bategeezezza nti zabamazeko ssente mpitirivu teziriiyo.
Essimu ya maneja nnanyini mmotoka ze bapangisa obuwanana bwe yakubiddwa ate yagambye nti mwana wa ssomero atagulanga yadde akagaali ka maanyi ga kifuba era ne wooteeri ezebbeeyi ze bagamba nti bazisulamu e Luweero ne Kiboga za mpewo, ekiwandiiko bwe kisoma.
__________________________________________________
Do You Yahoo!?
Tired of spam? Yahoo! Mail has the best spam protection around
http://mail.yahoo.com
_______________________________________________ Ugandanet mailing list [email protected] http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet % UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/

