| Alumiriza Muhwezi okwewola ssente zokulwanyisa siriimu | ||
| Bya Muwanga Kakooza MINISITA w'Ebyobulamu, Maj. Gen. Jim Muhwezi (ku ddyo) bamulumirizza nti yeewola ssente z'okulwanyisa siriimu 800,000/- n'azikozesa ebirala. Omukungu eyali avunaanyizibwa ku byensimbi mu kitongole ekyassibwawo okuzirabirira, Moses Opondo ye yalumirizza Muhwezi bwe yabadde mu kakiiko k'omulamuzi James Ogoola akabuuliriza ku baalya ensimbi zino akatuula e Nakawa. Opondo eyabadde n'omuyambi we Peter Kulaba ne munnatteeka Edward Kato yategeezezza nti ng'oggyeko Muhwezi abakungu abalala bangi beewola nga ku nsimbi zino. Opondo yagambye nti waliwo n'omwana w'omu ku baminisita bebyobulamu, Alex Kamugisha ayitibwa Julius Mugisha eyaweebwa omulimu mu kitongole ekyali kivunaanyizibwa ku nsimbi zino. Minisita Mike Mukula ye baamwogeddeko nti yeyambisa ensimbi zino okupangisa ennyonyi okugenda e Soroti n'e Arua nti alabe engeri abalwadde ba siriimu gye bajjanjabibwamu. Published on: Wednesday, 8th March, 2006 |
Yahoo! Mail
Bring photos to life! New PhotoMail makes sharing a breeze.
_______________________________________________ Ugandanet mailing list [email protected] http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet % UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/
The above comments and data are owned by whoever posted them (including attachments if any). The List's Host is not responsible for them in any way. ---------------------------------------

