Note: forwarded message attached.
Want to be your own boss? Learn how on Yahoo! Small Business.
--- Begin Message ---Balumbye Museveni okuteesa ne Mmengo ku Federo Bya Ahmed MukiibiABA DP basabye Pulezidenti Museveni akomye okuteesa ne Mmengo mu nkukutu ku nsonga ya Federo wabula agate ebitundu bya Uganda byonna biteese ku federo mu lujjudde kubanga Federo nsonga ya ggwanga lyonna. Baagambye nti okukukuta ne Mmengo tekijja kuvvaamu kalungi ne bamuwa amagezi ayite olukung'aana lw'abakulembeze n'abataka b'ebitundu bya Uganda byonna batuule ku mmeeza emu bakkaanye. Museveni baabimugambidde mu nteseganya ze yabaddemu n'abaamuvuganya mu kulonda kwa Pulezidenti okwakaggwa era aba UPC abaakuliddwa Miria Obote baawagidde DP nga bagamba nti nsonga ya Federo eteekwa okukkaanyizibwako nayo eve mu ddiiro. Enjuyi zonna zakkaanyizza okwongera okuteesa ku kya federo mu kakiiko akagatta ebibiina by'obufuzi akaatondeddwawo batuuke ku nzikiriziganya. Published on: Saturday, 29th July, 2006 http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=168&newsId=512106 ===================== Museveni akkirizza okufulumya lipoota y'}okuttibwa kwa Kayiira Bya Ahmed Mukiibi PULEZIDENTI Museveni akkirizza okufulumya lipoota ku kutemulwa kw'omugenzi Dr. Andrew Lutankome Kayiira. Dr. Kayiira eyali akulira ekibiina kya Uganda Freedom Movement (UFM) yatemulwa nga March 7, 1987, e Kkonge Makindye bwe yali mu maka ga munywayi we munnamawulire Henry Gombya. Aba DP baasinzidde mu nteeseganya ne Pulezidenti Museveni ku Lwokutaano ne bamusaba afulumye lipoota eno gy'atuddeko okumala emyaka kumpi 15. Ssaabawandiisi wa DP, Dr. Obil Ottoo yagambye nti ekisera kituuse ensonga y'okutemulwa kwa Dr. Kayiira eggyibwe mu ddiiro n'agamba nti Bannayuganda baagala okumaya ekituufu n'olwo luggwe. Museveni kwe kulagira Minisita Amama Mbabazi okukola ku by'okufulumya lipoota eno. Ekitongole kya bambega ekya Bungereza ekya Scotland Yard kye kyakola okubuuliriza ku kutemulwa kwa Kayiira ne kifulumya lipoota, kyokka gavumenti n'}egiremera. ------------------------ http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=167&newsId=512105 ========================================================= http://www.sundayvision.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=7&newsCategoryId=416&newsId=512120 ------------------------------------------ __________________________________________________ Do You Yahoo!? Tired of spam? Yahoo! Mail has the best spam protection around http://mail.yahoo.com
--- End Message ---
_______________________________________________ Ugandanet mailing list [email protected] http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet % UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/ The above comments and data are owned by whoever posted them (including attachments if any). The List's Host is not responsible for them in any way. ---------------------------------------

