Omusuubuzi attiddwa mu bukambwe
Edduuka ly'omugenzi Kasekende erya Mikomago ku Ben Kiwanuka. Mu katono ye
omugenzi Kasekende
Bya Joshua Mubulire
ABAZIGU bawambye omusuubuzi mu Kampala emisana ttuku ne bamussa mu bbuutu
y'emmotoka ne bamutwala ne bamutta omulambo gwe ne bagusuula mu nnyanja
Nnalubaale okumpi n'e Ggaba.
Deo Kasekende 38, abadde nnannyini dduuka lya Mikomago Enterprises ku Ben
Kiwanuka Street ng'atunda engoye n'ensawo ye
yawambiddwa abazigu abaasoose okumukubira essimu ku Lwokubiri nga
beefudde abamuleetedde ddiiru.
Namwandu we Racheal Nakibuuka Kasekende yategeezezza nti: "Twabadde
twakatuuka ku dduuka ku Lwokubiri ku ssaawa nga 3;00 ez'oku makya n'afuna
essimu n'afuluma mu dduuka n'agenda ng'ang'ambye nti waliwo abamwagala.
Sazzeeyo kumuwuliza okutuusa ssaawa musanvu we nafunidde obubaka obuwandiike ku
ssimu obwabadde bugamba nti: Abasajja bankutte, ndi mu bbuutu ... naye abaana
bange."
Nakibuuka yategeezezza nti olwabufunye n'akubaakuba ku banne bwe bakola
mu dduuka ne bamukwasizaako ne bategeeza poliisi ne RRU [eyali VCCU] ne
batandiika omuyiggo kyokka n'ababula.
Yategeezezza nti baatuuse ne mu MTN ne babagamba nti ennamba y'essimu
eyasindise obubaka yabadde teraga ne basuubiza okwongera okunoonyereza.
Ku Lwokutaano Nakibuuka agamba nti yabadde ali awo omuntu n'amukubira
essimu ng'akozesa ennamba ya Kasekende yennyini n'amugamba nti, "Ndi muvubi
naye tusanze omulambo gw'omusajja mu nnyanja Nnalubaale e Ggaba. Tugusanze
n'essimu ne tuggyamu layini ye gye nkubiddeko kubanga erinnya lyo ly'erimu ku
ge tusanzeemu, bw'oba omumanyi jjangu."
Nakibuuka eyabadde mu miranga yayongeddeko nti beetegerezza ne kizuuka
nti eyattiddwa ye bba. Eggulo baabadde bakyali mu ntegeka y'okugenda
okunnyulula omulambo n'oluvannyuma guziikibwe ku butaka e Mikomago Masaka.
Kasekende ne Nakibuuka balina abaana bataano okuli; Nassaka Flora (13),
Reagan Kasekende (9), Mugera Rodney (7), Elvis Bwanika (5), ne Elton Kakeeto
ow'omwaka gumu n'ekitundu.
Published on: Saturday, 4th August, 2007
The Mulindwas Communication Group
"With Yoweri Museveni, Uganda is in anarchy"
Groupe de communication Mulindwas
"avec Yoweri Museveni, l'Ouganda est dans l'anarchie"
<<1186241059moby.jpg>>
_______________________________________________ Ugandanet mailing list [email protected] http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet % UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/ The above comments and data are owned by whoever posted them (including attachments if any). The List's Host is not responsible for them in any way. ---------------------------------------

