FYI,

Kisonga from Tororo admitted at Mulago hospital after
being injured for opposing Federo.

=======================================================

Kisonga apoocera mu waadi 3B mu ddwaaliro e Mulago.
 
--Eyagivumiridde baamusudde mu lweje
 
KAMPALA 
Bya Bridget Namitala
 
OMUSUBUUZI mu katale ka St. Balikuddembe (Owino ) mu
Kampala apooceza mu ddwaliro e Mulago oluvannyuma lwa
banne okumusindika n�agwa mu sseppiki y�amazzi agookya
ng�entabwe eva ku kuvumirira nkola ya Federo. 
Moses Kisonga atunda amacupa mu katale kano nga
nzaalwa y�e Tororo, ali mu bulumi obutagambika
oluvannyuma lw�olweje okumubambulako eddiba. 
Bino byabadde mu katale ka Owino emisana ku Lwokuna
abasuubuzi bwe baakaayanye ku Federo ng�abamu
bagiwagira ate abalala nga bagiwakanya okukkakkana nga
babirwaniddemu. 
Kisonga eyasangiddwa mu waadi 3B e Mulago yategeezezza
nti banne baamusindise n�agwa mu lweje lw�amazzi bwe
yabadde alumiriza nti Museveni tasaanidde kuddiza
Baganda Federo. 
��Kale ebintu byatandise ng� eby�okusaaga nga tuwakana
ku Federo ne mbalangira omululu n�okwagala okutugoba
mu Kampala nga Museveni tasanye kubawa Federo kwe
kunsindika ne ngwa mu ssefuliya y�amazzi agabadde
geesera�� Kasonga bwe yannyonnyodde. 
Yagambye nti oluvannyuma lw�okumwokya ne bamugamba nti
osagiranga ku gwe wali osagiddeko olwo buli omu
neyemulula mpolampola ne babulawo ne bamuleeka ng�afa
obulumi. 
Akulira poliisi e Kampalamukadde, Mw. Abbey Kisubi
yagambye nti banoonyereza ku baayokeza Kisonga.

Bukedde ku Ssande 2nd February.
 


__________________________________________________
Do you Yahoo!?
Yahoo! Mail Plus - Powerful. Affordable. Sign up now.
http://mailplus.yahoo.com

Reply via email to