Kigongo alabudde aba Muvumenti obutanyigiriza bantu 

("LM" and you cohorts do not be like "Ndiwulira" ...)

Bya Frederick Kiwanuka

OMUMYUKA wa ssentebe wa muvumenti, Haji Moses Kigongo alabudde bannamuvumenti obuteetaba mu bikolwa ebinaabatuusa okuyigganyizibwa singa gavumenti ya muvumenti eriba evudde mu buyinza.

Mwegendereze ensi ekyuka. Mukole ebyo byokka bye mulisobola okwogerera nga muvumenti evuddeyo. Ky�osobola okwogerera ng�oli mu gavumenti kiyinza okukulema okwogerera nga muvumenti tekyaliwoKigongo bwe yagambye ng�ali e Luweero ku Lwomukaaga.

Kigongo eyabadde asisinkanye abakulembeze ba muvumenti mu Luweero era yalabudde abakulembeze ba Disitulikiti okulekera awo okwekkusa bokka ne basosola abataabalonda, n�agamba nti kino nakyo kyandivaako emitawaana mu maaso. Yawadde eky�okulabirako ekya ttenda z�ebintu eby�enjawulo n�agamba nti mu Disitulikiti ezisinga abakulembeze baayo bazeewa bokka n�abo abaabawagira mu kulonda.

�Nkirabye mu Uganda yonna nti omuntu ataawa ssentebe ali mu buyinza kalulu talina kantu konna k�afuna ku Disitulikiti. Gy�okomya okwagala okusosola munno gy�okomya n�okumuleetera obukyayi. Muleme kuleetera ggwanga buzibu,�� Kigongo bwe yagambye.

Kigongo eyayogeredde ku kitebe kya Disitulikiti e Luweero, yagambye nti atandise kampeyini mw�ajja okutalaagira Uganda yonna ng�agenda akubiriza bannamuvumenti okuddamu okugitambuliza ku musingi gwayo kwe yatandikira nga bassa kimu, okwewala effujjo n�obutayanika buziina bwabwe ku laadiyo.

Published on: Wednesday, 19th February, 2003

http://www.bukedde.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=2&newsCategoryId=61&newsId=116801



Protect your PC - Click here for McAfee.com VirusScan Online

Reply via email to