Meanwhile, former ESO boss, David Pulkol, sees nothing wrong with reinstating of the Buganda government with the Kabaka as the head. Speaking on Monitor FM, he asked why the Kabaka should not have power when he is the head of the 52 Baganda clans. However, he warned that this should not tempt the Kabaka to claim power over the whole of Uganda.
He added that the CA clearly stipulated how Buganda matters should be handled. Therefore, the government delay to implement and the president's statement that he is the one with the ability to solve them, is wrong.
�Mukole ku bya federo�
Bya Annet Nakate
ABA Reform Agenda baagala gavumenti ng�eyita mu palamenti esseewo akakiiko akanassa mu nkola enfuga ya Federo kubanga Banna-yuganda abasinga bagyagala.
Baagambye nti eky�okussaawo akakiiko okukung�aanya ebirowoozo ku nfuga ya federo tekiwa makulu kubanga Bannayuganda baasalawo dda nga bayita mu kakiiko ka Ssabalamuzi Odoki nti y�enkola gye baagala.
Bino byabadde mu lukungaana lwa bannamawulire olwatudde ku kitebe kwabwe e Bukoto ku Mmande.
Omumyuka w�omuwandiisi mu kibiina kino Louis Otika yategeezezza nti akakiiko akassibwawo okunoonyereza ebirowoozo ku Ssemateeka akaakulemberwa omulamuzi Ben Odoki kaazuula nti Bannayuganda abasinga bawagira enfuga ya federo nti n�olwekyo ekya gavumenti ate okussaawo akakiiko akalala okunoonya ebirowoozo ku federo kubeera kwonoona ssente za muwi wa musolo.
Published on: Tuesday, 4th May, 2004
�Abuweebwe�
Pulkol Bya Angel Lubowa
EYALI akulira ekitongole ekiketta ebweru w�eggwanga ekya ESO , Mw. David Pulkol agambye nti talaba kabi mu kuzzawo gavumenti ya Buganda nga bwe yabeeranga ng�ekulirwa Kabaka alina obuyinza.
Pulkol nga kigambibwa yeegasse ku babaka ba palamenti abeekibiina kya PAFO ekiwakanya ekisanja yagasseeko, �Obanga Kabaka y�akulira ebika 52 eby�Abaganda, lwaki tabeera na buyinza?�. Yabadde ayogerera ku laadiyo ya Monitor FM gye buvuddeko .
Wabula yagambye nti kino tekisaanye kuwaga Kabaka atuuke n�okwagala okubuutikira eggwanga lyonna.
�Olukiiko olwakola ssematteeka lwalambika bulungi engeri ensonga za Buganda gye zirina okukwatibwamu n�olwekyo gavumenti okulwawo okubissa mu nkola ate Pulezidenti n�ategeeza nti yalina obusobozi okubimulungula kibeera kikyamu,� bwe yayongeddeko.
Published on: Wednesday, 5th May, 2004 .............
_________________________________________________________________
The new MSN 8: advanced junk mail protection and 2 months FREE* http://join.msn.com/?page=features/junkmail
-------------------------------------------- This service is hosted on the Infocom network http://www.infocom.co.ug

