|
Musooke muddeyo e Mengo mufune olukiiko
olulonde.
Em
Toronto
The Mulindwas Communication Group "With Yoweri Museveni, Uganda is
in
anarchy"
Groupe de communication Mulindwas "avec Yoweri Museveni, l'Ouganda est dans
l'anarchie"
----- Original Message -----
Sent: Wednesday, September 22, 2004 8:10
PM
Subject: [Ugnet] Re: Palamenti eneeba
n'obuyinza okuggyako Kabaka!
Mw. ...
Ah! Kino kyo kitususeeko! Oba kati waliyo ababaka bamekka
abasobola okuwagira etteka bwerityo? Nze ndowooza waliwo abajja
okuliwagira nga Mu7 abawadde sente n'abasasulira amabanja. Kitalo
nyo banaffe! Katikkiro byeyagamba eby'okusabira Kabaka
n'Obuganda olw'ebiseera ebitujjirira mumaaso bibino bitukirira.
Tewali njawulo wakati wa Mu7 ne Obote. Oyo Mu7 wamu n'Obote
wakwo batta Abaganda e Luwero - ekyo temukyerabiranga! Mulekere awo
okwerimba mwekka nti Mu7 teyatta Baganda e Luwero, oba nti Obote yekka
yeyatta; bonna batta Baganda banaffe e Luwero nemu Kampala.
Zakoomu M.
================================================================ ... ...
... <[EMAIL PROTECTED]> wrote:
Bannange ensonga nnagikoonako mu e-mail yange 'Ensi
egudde eddalu?'. Mwetegereze nti kino kigoberedde Bunyoro okuwabira
Kabaka mu mbuga za mateeka. Kabaka bwanagaana okugenda mu kooti nga
tebatuma baserikale kumukima? Yensonga y'emu eyelambika obulungi
bwewetegereza engeri gavumenti gye cwacwalikana ne Mengo nokulabula
Mengo. It seems Mengo is warned either to back the movement or to be
resolved. Kuno bwogattako sad term negujabagira. Gyetulaga erabika
ekutte kazigizigi!
================================================================
Byokya
Bya Ahmed Mukiibi
ABABAKA abamu beesoozezza minisita Hajati
Janat Balunzi Mukwaya bwe yayanjudde ekiteeso ekiwa palamenti obuyinza
obuggyako Kabaka.
Ekiteeso kigamba: Kabaka oba omufuzi yenna
ow�ensikirano anaamenya konsitityusoni, palamenti eneeba n'obuyinza
obumuggyako.
(The traditional or cultural leader is subject
to the constitution and if he violates the constitution, he will be
removed from office by parliament.)
Bino biri mu kiwandiiko
kya gavumenti ekya White Paper minisita kye yayanjulidde palamenti
eggulo. Ekiwandiiko mwe muli ebirowoozo ku kukyusa konsitityusoni. Muno
mw'etadde ne federo gy'eyagaliza Buganda.
Minisita yabadde
tannamalayo nsonga eno abamu kwe kwesooza n'okunyeenya emitwe abalala ne
baseka mu ngeri y'okwewuunya. Abamu baawuliddwa nga beebuuza nti
"gavumenti ebadde ki?" n'abalala nti "Ebintu nga bigenze wala."
Embeera eyo yawalirizza Mukwaya okusiriikiriramu, sipiika Edward
Sekandi asobole okukkakkanya ababaka. Bwe baasirise Mukwaya
yabannyonnyodde nti Pulezidenti bw'aba asobola okuggyibwamu ne
baminisita tusobolaokuggyibwako obwesige, nammwe (ababaka) musobola
okugobwa, lwaki ye Kabaka abeera waggulu w'amateeka?
Olwo
Mukwaya yabadde yaakamala okunnyonnyola ababaka nti gavumenti etadde mu
White Paper ebirowoozo bya mirundi ebiri ku by'obukulembeze bwa
gavumenti ezebitundu, bo ababaka be banaasalawo.
Ebirowoozo bino
mwe muli eky'enkiiko ebbiri okubeera e Mmengo n'ebitundu ebirala eri
abafuzi b'ensikirano ng'olumu lwa byabufuzi olulondeddwa obutereevu
n'olulala olw'ebyobuwangwa olujja okubaamu Abataka. Oba olukiiko lumu
olulonde kyokka ng'a lulimu n'ababaka b'ebyobuwangwa. Ebitundu eteri
bafuzi ba nsikirano ejja kubaayo olukiiko lumu lwokka.
Ensonga
endala eziri mu White Paper gavumenti ewagira okuggyako ekkomo ku
bisanja Pulezidenti by'alina okufuna kyokka palamenti y'ejja okusalawo
eky'enkomerero.
Ku kukyusa okuva mu muvumen ti okudda mu bibiina
kijja kukubwako akalulu k'ekikungo olwo palamenti eryoke ekyuse akatundu
74 aka Konsitityusoni.
Okulonda kwa pulezidenti, ababaka ba
Palamenti ne bassentebe ba LC5 kubeewo ku lunaku lumu.
Gavumenti
esemba Bannayuganda okukkirizibwa okubeera n'obutuuze obw'emirundi ebiri
(obwa Uganda n'eggwanga eddala).
Sipiika Sekandi yategeezezza
ababaka oluvannyuma nti agenda kubata baddeyoko mu bantu babeebuuzeeko
ku nsonga z'okukyusa mu konsitityusoni, kyokka n�abasaba nti ekiseera
bwe kinaaba kituuse eky�okuteesa ku nsonga eno, bakulembeze ebirowoozo
by'abantu be bakiikirira sso si ebyabwe.
Published on: Wednesday, 22nd September, 2004
Do you Yahoo!? Take
Yahoo! Mail with you! Get it on your mobile phone.
Do you Yahoo!? New
and Improved Yahoo! Mail - 100MB free storage!
_______________________________________________ Ugandanet mailing
list [EMAIL PROTECTED] http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet %
UGANDANET is generously hosted by INFOCOM
http://www.infocom.co.ug/
|
_______________________________________________
Ugandanet mailing list
[EMAIL PROTECTED]
http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet
% UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/