One can\'t fail to feel sad - the picture tells it all

http://www.bukedde.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=2&newsCategoryId=60&newsId=402223

Enkuba erese Kampala mu maziga 
 
Yaddukidde ku nju waggulu ng�amazzi gamutwala.
 
Bya Margaret Ziribaggwa ne Sennabulya 
Baagalayina 

NNAMUTIKWA w�enkuba eyafukumuse mu Kampala ku Lwokuna akawungeezi alese abantu 
basatu bafu. 
Ebitundu bya Kampala byasaliddwako amataba entambula n�esannyalala era abantu 
bangi eka baatuuseeyo mu ttumbi. 

KAWAALA - KASUBI 
Abaafudde kuliko Idi Kimuli 40, omukozi w�amasannyalaze e Kawaala. Omuti 
gwakubye waya z�amasannyalaze ne gakutuka bwe yagenze okugaggyako ne gamukuba 
n�akalirawo. 

Mu kitundu kye kimu, essomero lya siniya erya Excel eriri e Kawaala ku kkanisa 
lyatikkuseeko akasolya kibuyaga n�akakunguzza n�akakuba okumpi n�omuzikiti 
oguliraanyewo. 
KIRA 

Noah Kiwanuka ow�e Kyaliwajjala yabadde agenze okuyiwayo bisaaniiko ku ssaawa 
12.30 ez�akawungeezi, n�aseerera n�agwa mu mwala kyokka olw�amaanyi amazzi kwe 
gaabadde gatambulira teyasobodde kuva mu mwala mwe yafiiridde. 

Mu Lubigi okumpi n�e Nansana ku lw�e Hoima amazzi gaayanjadde mu luguudo era 
emmotoka nnyingi zaalemereddwa okugayitamu ne zisalinkiriza e Kawaala-Nabweru. 
Ezimu zaaguddeyo, era poliisi ye yaziyambye. 

Abavubuka beeyambisizza akakisa okwekolera ensimbi ez�amangu ng�okusomosa 
omuntu mu mazzi osasula 1000/- ate abavuzi b�obugaali ne bodaboda obwedda 
beeramula 1500/- okutuuka ku 3,000/-. 

BWAISE 
Amazzi gaayanjadde mu luguudo emmotoka ne zeesiba. Abantu badduse mu mayumba 
ng�amazzi gagazinzeeko. Embeera eyo yabadde ku Kaleerwe, Katwe, Ndeeba, Nateete 
n�ebitundu ebirala. 

Abasuubuzi mu bitundu ebyo enkuba yabonoonedde ebintu n�ebirala amazzi we 
gabitwala. 

Emmotoka zeesibye mu �traffic jam� olwo era bangi abasula mu nkingizzi za 
Kampala baatuuse eka mu ttumbi. 
Omwogezi w�ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya KACITA Mw. Isa Ssekitto yagambye 
nti enkuba yagootaanyizza nnyo emirimu gy�abasuubuzi naddala abakola 
akawungeezi n�ekiro. 

Omwogezi wa poliisi Mw. Asuman Mugenyi yagambye nti omugotteko gw�ebidduka 
gwaweddeyo kumpi ku ssaawa 7.00 ez�ekiro. 
Omuvubuka eyategeerekeseeko erya Sula yabbye pikipiki UBC 535K n�agyolekeza e 
Mpigi. Baamukutte akutte olw�e Butambala ne bamukumako omuliro. 

NTINDA 
Omubbi yayambadde kabuuti n�akwekamu emmundu n�apangisa bodaboda UBC 347C eya 
Felix Walugaba ku siteegi y�e Kiwaatule bwe baatuuse e Bukoto n�amusongamu 
emmundu n�agimubbako. 

E Kampalamukadde Vincent Yeko omukuumi w�edduuka ly�emigaati erya ECLUF ku 
Martin Road yeekobaanye ne banne ne banyagamu ssente oluvannyuma ne yeetwala ku 
poliisi okutegeeza bwe bamubbyeko emmundu. 
Akulira poliisi e Kampalamukadde Abbey Kisubi yagambye baasitukiddemu ne 
basanga ng�emmundu yagirese awo ne bamukwata. 

WAMPEEWO 
Omulongooti gwa laadiyo ya City FM gwagudde ne gukuba emmotoka y�omubaka 
Ssebalu Sitenda. Emmotoka kuliko Pajero ne tulakita. Maj. Kakooza Mutale 
yatutte abaserikale okukuuma ekifo. Ebirala bya Samuel Kavuma ne Deborah 
Nanfuka.

 




Bwanika 
________

http://www.idr.co.ug
--> for your consultancy needs

http://p201.ezboard.com/fugandamanufacturersassociationfrm1

-----------------------------------------------------------
Spela poker mot verkliga m�nniskor �ver Internet. �ver 60 000 spelare online
http://www.multipoker.com




_______________________________________________
Ugandanet mailing list
[EMAIL PROTECTED]
http://kym.net/mailman/listinfo/ugandanet
% UGANDANET is generously hosted by INFOCOM http://www.infocom.co.ug/

Reply via email to