Yeewuunya abebibiina abazze n�ebyobufuzi eby�okwekuba obuwuna  


OMUZANNYO ogw�okukubagana �obuwuna" gwayingidde dda mu byobufuzi era bannabyabufuzi baatandise dda okuguzannya. Akawuna muzannyo gwa kiganda. Akuba munne akawuna azinduukiriza muzinduukirize n�amukuba ekisiraani anti gwe bakubye akawuna asula alogootana.

Awo nno okuwona okuzinduukirizibwa okukubwa ekisiraani ky�akawuna omuntu kimugwanira buli kiseera okuba ku bunkenke nga yeekutte ku kkundi. Ekkundi ly e lifulula akawuna. Oli bw�akugamba nti �kawuna� n�omwanukula nti �nneekutte ku kkundi� olwo ng�akawuna okafuludde.

Mw. Sam Njuba owa Reform Agenda yazinduukirizza Dr. Paul Kawanga Ssemogerere n�amukuba akawuna. Amulanga ki? Mbu kuba Ssemogerere yenyonnyongozza n�atalangirira mangu eri ensi yonna ng�ekibiina kya DP nakyo bwe kisazeewo okutongozebwa mu mukago gwa G7 DP efuuke omubiri gumu n�omwoyo gumu ne UPD, Reform Agenda n�ebibiina ebirala olwo basimbewo omuntu omu anaavuganya Museveni ku bwapulezidenti mu 2006 olwo basiguukulule Muvumenti mu buyinza.

Ebyobufuzi nabyo kisiraani kyennyini. Okumanya ng�ebyobufuzi kisiraani kale laba Njuba bw�awemukira Ssemogerere amukube akawuna ataabuukane mbu olw�okuba musajjawattu yeenyonyongozza okutta omukago ne UPC ogwa G7. Ne UPC ettika nayo omukago?
Eyo UPC eyogerwako yeeyo yennyini eyaliisa Njuba akakanja mu myaka gye 80 kumpi kumuttira ddala okumuggya ku nsi singa tekwali kuwonga nnyo ne DP ya Ssemogerere etuuke n�okumukwekako ebuziizi.

Njuba osaagiranga ku gwe wali osaagiddeko naye tosaagiranga ku UPC ya Obote. Obanga n�aba Kabaka Yekka abaasookera ddala okwevaamu ne batta ne UPC omukago nga bwe batyo bonna bwe batuuse okuva ku nsi okugenda emagombe ng�omukago gwa UPC baguwanda lulusu naye ate Reform Agenda yeruwa oyo ataweramu na nnyama eriisa kkapa ayinza okwepampalika ku mukago gwa UPC olwo Njuba alyoke atuuke n�okweneggula musajja wattu Ssemogerere ajjukira obulungi ebyeneena by�omukago gwa UPC.

Jjukira nti ekifulula ebisiraani by�okukubwa akawuna kuba kwekwata ku kkundi. Ssemogereore gira weekwate ku kkundi ogambe nti �nneekutte�. Weekwate ku kkundi kubanga ensi yonna ekyajjukira bulungi googolimbo ava mu kutta emikago ne UPC n�olwekyo teri ajja kukunenya ng�ogaanyi okusaddaaka DP okugitwala mu mukago gwa UPC ogulinnye Njuba ku mutwe.

Wo ayi Mzee Zedde ng�alabye ennaku. Teebereza abasajja abakulu abeerangiridde nga bwe bamaliridde okusiguukulula Museve ni mu buyinza ate bwe bazze mu byobufuzi eby�okwekuba obuwuna!

Bagundi mulimba muve mu by�okukubagana obuwuna. Obuwuna bujja kubale-mesa n�okutuuka ku kwegatta okwa nnamaddala kwe mwalyetaaze wabula mudde mu byobufuzi eby�okwekaniikirira era n�ebyokukomyawo UPC ku lujjuliro n�oluvannyuma ne Mungu abanyiigire abakube ebbalaayi mu buwompo mubyabatalire mu bugayaavu bwammwe obw�okwekuba obuwuna.  Musuubira agatukula tegazza musango? Oswii!

Published on: Saturday, 6th March, 2004
==============================
 
in short: Obote and UPC are a sure way for a political party to commit suicide.


FREE pop-up blocking with the new MSN Toolbar � get it now! -------------------------------------------- This service is hosted on the Infocom network http://www.infocom.co.ug

Reply via email to